Jump to content

Namba ez'omuteeberezo(imaginery numbers)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Namba Ezomuteeberezo

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Namba Ez’omuteeberezo (Imaginary Numbers).

Eno ye namba yonna nga yebirigiddwa (when squared) ekivaamu kiba mu negatiivu.Singa webiriga namba yennyini yonna oba ofuna eya kiddamaaso(positive) oba zeero.Eky’okulabirako : 2×2=4, ne (-2)×(-2) nakyo kivaamu =4.

Kakati tuyinza tutya okwebiriga namba yonna ne tufuna kiddannyuma? Bwe tukuba ekifaananyi nti tuyinza, tuba tuyinza era kivaamu nti namba nga eyo erabika nga etasoboka, erina emigaso era yeyambisibwa okubaza obukunizo bwennyini.

Namunigina ya namba ey'omuteeberezo ye √(-1) (omurandira gwa kyebiriga ogwa kyawuza 1(minus one) era akabonero kayo ke i, oba j.

Namba z’omoteeberezo  nga yebirigiddwa (squared) etuwa ekivaamu nga kiri mu Kiddannyuma(negative).