Namba eza Kigaanira(Odd numbers)
Gakuweebwa Charles Muwanga !! Namba za kigaanira (Odd numbers).Kigaanira kiggwayo, kigaaniremu. Bw'okisalira(clipping) n'osigaza "kigaanira"(odd).
Obutaba nga namba za kyegabanya, namba za kigaanira (odd numbers) bw'ozigabizaamu bbiri ofuna enfissi (remainder), ekiziyisa kigaaniremu(odd numbers).
Enamba za kigaanira ziba zikomekkereza n’enfissi omuli endagamuwendo (digits) zino: 1, 3, 5, 7, 9, 11, 13, 15, 17, 19, 21, 23, 25, 27, 29, 31…….Zino zonna namba za kyegabanya.
Ebisonjozo bya namba eza kigaanira n’eza kyegabanya
(a)Okugatta:
Kigaanira + KIgaanira = Kyegabanya
Kigaanira + Kyegabanya = Kigaanira
Kyegabanya +Kyegabanya =Kyegabanya
(b)Okwawuza :
Kigaanira - KIgaanira = Kyegabanya
Kigaanira - Kyegabanya = Kigaanira
Kyegabanya - kyegabanya = Kyegabanya
( c ) Okukubisaamu
Kigaanira x kigaanira = Kigaanira
KIgaanira x Kyegabanya =Kyegabanya
Kyegabanyax kyegabanya = Kyegabanya
(d) Okugabiza:
Kigaanira gabiza kigaanira(Kigaanira / Kigaanira = Kigaanira
Kyegaabanya gabiza kigaanira(Even / Odd) = Kyegabanya
Kyegabanya gabiza kyegabanya (Even / Even) = Kyegabanya