Nanyondo Birungi Carolyn

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Nanyondo Birungi Carolyn (yazaalibwa nga 12 muwakanya 1975) munnabyabufuzi wa Uganda era yali mubaka omukyala owa disitulikiti ye Kalangala mu Palamenti ey'omwenda

Ebyafaayo n'obuyigirize[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kalangala era yatandika okusoma mu St Theresa, Gayaza Girls era n'afuna ebigezo bya Primary Leaving Examinations (PLE) mu 1989 n'oluvannyuma n'agenda mu Modern secondary school, Kampala n'afuna Uganda Certificate of Education (UCE) mu 2006 eyo oluvannyuma lwa Sharing Hall Centre, Nsambya n'afuna Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu 2009. Yafuna Bachelor of Public Administration and Management okuva ku Nkumba University mu 2014.[1]

Emirimu n'ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Yeegatta ku by'obufuzi mu 1996 bwe yalondebwa okubeera Kansala w'abavubuka abakyala mu disitulikiti oluvannyuma n'afuuka omuwandiisi w'ebyensimbi n'eby'okukolamu ku Kalangala District Local Government mu 2006, ate mu 2008 n'afuuka omuwandiisi w'ebyobulamu ne LC V Councillor mu 2011 Kyamuswa Sub-county, Kalangala District. Yali omuwandiisi w'emirimu era omubaka w'akakiiko akafuzi aka Kalangala District Local Government. Oluvannyuma mu 2011 yalondebwa mu palamenti ng'omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Kalangala.[2]

Ebijuliza[kyusa | edit source]

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-27. Retrieved 2021-08-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-26. Retrieved 2021-08-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)