Naome Kibaaju

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Naome Kibaaju yazaalibwa nga 1 Ogwomukaaga mu 1950, nga Munayuganda avunaanyizibwa ku by'okudukanya emirimu, ng'era munabyabufuzimu Paalamenti ya Uganda eye kumi. Ye mubaka omukyala akiikirira essaza lya Sheema yomu Bukiika Ddyo, mu Disitulikiti ya Sheema. Ali mu kibiina ky'eby'obufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM).[1]

Obulamu bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Mu 1962, yamaliriza ebigezo bye ebya P7 ku Bweranyangi Girls Primary School. Mu 1969, yafuna Satifikeeti y'obuyigirize ey'omubuvanjuba bwa Afrika ku Bweranyangi Girls Senior Secondary School. Mu 1970, Naome yatuuka East African Advanced Certificate of Education ku Trinity College Nabbingo. Oluvannyuma yeegata ku Yunivasite ye Makerere, gyeyatikirwa ne Diguli mu By'enjigiriza mu By'obufuzi, wamu n'okudukanya embeera z'abantu mu 1974. Mu 1978, Naome yaddayo ku Yunivasite ye Makaerere gyeyafunira Dipulooma mu mu by'okudukanya embeera z'abantu. Mu 1998, yatikirwa ne Diguli ey'okusatu mu By'enjigiriza ku kikula ky'abantu n'enkulakulana okuva ku Yunivasite ye Makerere.[1]

Emirimu gyeyasooka okukola[kyusa | edit source]

Wakati wa 1998 ne 1999, yawerezaako nga omu kubaali ku kakiiko k'abakyala abaali balwanirira okutaasa bamulekwa. Yakolako nga omuyuka w'omuwandiisi mu ofiisi ya Pulezidenti okuva mu 1975 okutuuka mu 1980. Mu 1980 okutuuka mu 1990, yakolako nga omumyuka w'omuwandiisi omukugu mu ofiisi ya Saabaminisita. Mu 1991 okutuuka mu 1996, yaweebwa eky'okubeeta omumyuka omukulu eyali akulira omuwandiisi mu Minisitule yeby'ensiimbi, enteekateeka wamu n'okulakulanya eby'enfuna. Wakati wa 1997 ne 1998, yakolerako wansi w'omuwandiisi ku kakiiko akavinaanyizibwa ku by'enjigiriza. Mu 1998 okutuuka mu 2000, yawerezaako ku kakiiko akadukanya Yunivasite ya Ankole Ey'omubuganjuba. Mu kaseera ka 1999 ne 2000, yeeyali omukyala amyuuka kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga eya kiraabu y'omuzannyo gwa goofu. Wakati wa 1999 ne 2010, yali akolera wansi w'omuwandiisi mu Minisitule ye By'okwerinda.[2] Wakati wa 2012 okutuuka mu 2016, yawerezaako ku kakiiko akadukanya erimu ku ttabi ly'oby'okwerinda erivunaanyzibwa ku by'obusuubuzi erya National Enterprise Corporation. Okuva mu 2016 okutuuka kati, y'omu kubali ku kakiiko akadukanya mu ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'okutereka eddagala Uganda. Okuva mu 2017 okutuuka kati, atuula ku kakiiko ka Uganda Micro Finance Regulatory Authority.[1]

Obulamu bwe mu By'obufuzi[kyusa | edit source]

Okuva mu 2018, okutuuka nakati, ye mubaka wa Paalamenti ya Uganda. Kibaaju yalondebwa okugenda mu Paalamenti oluvannyuma lw'okuwangula.[1] Guma Nuwagaba eyali mu kibiina ekivuganya gavumenti ekya Forum for Democratic Change (FDC) ng'afunye obululu 11,326 ku bululu 7,322.[3][4] Ekifo kya Paalamenti ekya Sheema Ey'omubukiika Ddyo North kyatuua nga tekirina akidukanya, oluvannyuma lw'eyali Omubaka w'ekitundu kino Elioda Tumwesigye okulekulira mu Gwomunaana, oluvannyuma lw'okulondebwa ku ky'omubaka owa munisipaali eyali etondeddwawo eya Sheema.[5][6] Nga 6 Ogwekuminoogumu mu 2018, yalayizibwa eyali anyuka omwogezi wa Paalamenti omugenzi Jacob Oulanyah.[5] Oluvannyuma Oulanya yamukwasa semateeka n'agamu kumateeka ga Paalamenti ng'alina okugoberera.[2]

Naome Kibaaju yamega Guma Nuwagaba ng'amusinzeeko obululu 4,000  okuvotes, okuwangula akalulu akatalinda aka konsitituweensi ya Sheema Ey'obukiika ddyo. Obululu obutuufu bwonna nga bw'obeera obugase bwali 18,648, ng'ate obufu bwali 125 nga obukonge 28 bwali bwononese.[7] Essaza lyonna lyali lirina webalondera wa mirundi 65. Ssentebe w'ekibiina kya NRM Pulezidenti Yoweri Museveni yamwogerako nga omuntu alina ekisa era omwesigwa eyali akozeeko mu by'okwerinda, nga tanaba kuyingira mu byabufuzi.[7]

Sheema North constituency by-election. The total number of valid votes cast was 18, 648 while the invalid votes were 125 with twenty-eight (28) ballot papers spoilt. The county had a total of 65 polling stations. She was described by NRM chairman President Yoweri Museveni as an honest and trusted person who worked in defense for many years before joining politics.[8]

Abantu basatu baalondebwa okwesimbawo ku kifo ky'omubaka wa wa Paalamenti anaakiikirira Sheema Ey'omubukiika Ddyo mu kulonda okwali ku binda binda okwa nga 8 Ogwekumi. Abantu bano abasatu kwaliko; Naome Kibaaju eyalondebwa ku tikiti ya NRM, Guma Nuwagaba, eyali ku tikiti ya FDC oluvannyuma lw'okwabulira NRM wamu ne Felix Mujuni eyakirizibwa okwesimbawo nga talina kibiina kyabyabufuzi kyeyali agiddeko.[8]

Guma Nuwagaba[kyusa | edit source]

Guma Nuwagaba yalina emyaka 44, nga yazaalibwa mu Buringo, mu ggombolola ya Masheruka, mu Disitulikiti ye Sheema. Yasomera ku Buringo Primary School, St Mukasa Preparatory Seminary gyeya malira P7, wamu ne Kitabi Seminary gyeyatulira S4 ne S6. Yasoma Diguli mu By'enjigiriza ku bikwatagana ku by'embeera z'abantu n'ebibetolodde okuva ku Yunivasite ye Makerere. Mu 1998, yalondebwa ku ky'okubeera kansala w'abavubuka mu Disitulikiti ya Bushenyi. Mu 2002, yalondebwa ku ky'obwa kansala w'e gombolola lya Kigarama , gyeyawereza okutuuka mu 2006. Yaweebwa eky'okubeera nga ayambako ku gavumenti y'ebitundu, mu Mitooma mu 2014.[9]

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Yaliko omukyala omufumbo.[1]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]