Jump to content

National Environment Management Authority of Uganda

Bisangiddwa ku Wikipedia
Nema logo

 

  Ekitongole kya National Environment Management Authority of Uganda (NEMA), kitongole kya Gavumenti ekivunanyizibwa ku kwekenenya, okukubiriza, okulondoola, n'okuwa ebiragiro butonde bw'ensi ne enkola ezirwanirira obutonde bwensi eza Uganda. NEMA ewabula Gavumenti ya Uganda era ekulemberamu enkulakulana mu nkola z'obutonde bwensi, ebikugira, amateeka, ebigobererwa n'omutindo.[1]

Endagiriro w'ekisangibwa

[kyusa | edit source]

Ekitebe ekikulu ekya NEMA kisangibwa ku Luguudo lwe Jinja 17/19/21, mu Divizoni y'omumasekkati mu Kibuga Kampala, kibuga ekikulu ekya Uganda ekisinga obunene.[2] Ebibalo by'akyo by'ekitebe kya NEMA okusinzira ku basomi b'ebibalo by'ensi biri biri: 00°18'51.0"N, 32°35'24.0"E (Latitude:0.314167; Laitude:32.590000).[3]

Overview

[kyusa | edit source]

NEMA yatandikibwawo mu Gwokutaano 1995 wansi w'akawayiro akakwasaganya obutonde bwensi aka National Environment Act Cap 153 era n'ekitandika okukola mu Gwekkuminebiri 1995.[1] kikolera wansi wa Minisitule ya Uganda ekwasaganya amazzi n'obutonde.

Obukulembeze

[kyusa | edit source]

Ekitongole kino kiri wansi w'obukulembeze bw'abantu mwenda abali ku kakiiko nga ba Dayilekita nga bakulemberwa Ssentebe aliko kati, Sandy Stevens Tickodri-Togboa. n'eba mmemba abalala ku kakiiko mulimu Pricilla Nyandoi, Pascal Musoli, Julian Komuhangi, Elly Sabiiti, James Lutalo, William Ndoleriire, Gideon Bagadawa ne Beatrice Byarugaba. Dr Priscilla Nyadoi aweereza nga omumyuka wa ssentebe, ne Tom Okurut, ye mukulembeze w'ekitongole.

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 GOU (28 March 2018). Cite error: Invalid <ref> tag; name "Two" defined multiple times with different content
  2. NEMA (28 March 2018).
  3. https://en.wikipedia.org/wiki/Google

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]

00°18′51″N 32°35′24″E / 0.31417°N 32.59000°E / 0.31417; 32.59000  Template:Kampala District