Nicholas Wadada
colspan="4" class="infobox-header" style="background-color:
| |||
---|---|---|---|
Amannya ge mu bujuvu |
Nicholas Wadada Wakiro[1] | ||
Enaku z'omwezi zeyazaalibwamu | Nga 27 Ogwomusanvu, mu 1994 (ng'alina emyaka 29) | ||
Ekifo gyeyazaalibwa | Lugazi, Mu Uganda | ||
Obuwanvu bwe |
1.64 m (5 ft 5 in)[1] | ||
Ekifo ky'azannya | Ng'omuzibizi ku ludda lwa ddyo | ||
colspan="4" class="infobox-header" style="background-color:
| |||
Ttiimu gy'amu kati | |||
Enamba gy'ayambala |
14 | ||
colspan="4" class="infobox-header" style="background-color:
| |||
Omwaka | Ttiimu | Emiriundu gy'abazannyidde | Ggoolo z'ateebye |
2010–2013 | |||
2013–2018 | |||
2018– | |||
colspan="4" class="infobox-header" style="background-color:
| |||
2013– |
36 |
(4) | |
2013 |
Uganda U23 |
2 |
(0) |
2012 |
Uganda U20 |
6 |
(0) |
2012– |
51 |
(1) | |
Emipiira gy'azannye ne ggoolo z'ateebye mu kiraabu mu liigi y'eggwanga.
Emipiira gy'azannyidde ttiimu y'eggwanga ne ggoolo z'ateebye, zikungaaniziddwa okuva nga 10:20 nga 15 Ogwomunaana mu 2019 (UTC) |
Nicholas Wadada Wakiro yazaalibwa nga 27, mu Gwomusanvu mu 1994 nga munayuganda zannya omupiira gw'ensiimbi ng'omuzibizi ku ludda lwa ddyo mu Azam F.C. ey'e Tanzania ne ttiimu y'eggwanga erya Uganda.
Emirimu mu kiraabu
[kyusa | edit source]Ng'atandika emirimu gye
[kyusa | edit source]Wadada yatandika okusamba omupiira ng'azannya omupiira gw'avubuka ng'alina emyaka 13 ne Lukuli United mu 2007. Oluvannyuma yeegata ku St. Mary's Kitende mu 2010 nga mu mwaka gwegumu, yeegata ku kiraabu ya supera liigi ya Uganda Bunamwaya FC (kati eyitibwa Vipers SC).
Kiraabu ya Bunamwaya FC
[kyusa | edit source]Wadada yeegata ku Bunamwaya FC mu 2010, nga ku myaka 16 years, yeeyali omusambi eyali ayambako mu kuzibira mu kifo ky'oludda lwa ddyo mu mipiira emitono tono mu sizoni eyo
IMu sizoni ya 2011–12 Wadada yafuuka omusambi eyasamba buli mupiira, ng'era yali omu ku ttiimu eyakwata eky'okubiri mu liigi ya Uganda eyababinywera eya 2011–12.
Mu 2012–13 Wadada yazannya emipiira 20 egya liigi nga Bunamwaya emalira mu kifo eky'okusatu mu liigi ya Uganda eyababinywera.
Kiraabu ya Vipers SC
[kyusa | edit source]Mu sizoni ya 2013–14 kiraabu ye Bunamwaya FC yakyusa erinya neyitibwa Vipers SC. Wadada yakuuma ekifo kye eky'okutandika mu ttiimu, nga wadde Vipers SC fyamalira mu kifo kya kuna. Yatandika u mipiira 32 ng'ateebye ggoolo 3.
Mu 2014–15 Wadada ng'alina emyaka 20 gyokka, yafuuka omusambi eyeesigamwako, nga yazannya omulimu munene nnyo nga bawangula liigi ya Uagnda eyababinywera.Yazannya emipiira 30, n'ateeberamu ggoolo 4.
Mu 2015–16, Wadada yafuuka kapiteeni wa Vipers SC, n'awangula Uganda Cup mu sizoni eyo oluvannyuma lw'okuwangula Onduparaka FC mu fayinolo. Yazannya emipiira 34 ng'ateebye ggoolo 2.
Mu 2016–17, Wadada yeeyali kapiteeni wa ttiimu ya Vipers SC eyazannya CAF Confederation Cup nga battunka ne Platinum Stars ey'e South Afrika. Kiraabu ye yamalira mu kyakusatu mu liigi y'ababinywera. Yazannya emipiira 35,ng'ateebye ggoolo 2.
Mu 2017–18, Wadada yasitula ekikopo kya liigi yababinywera ne Vipers SC,ekikopo kye eky'okubiri nga kapiteeni. Yazannya emipiira 36, baamaliriza mu kifo kya kubiri mu Uganda Cup.
Kiraabu ya Azam
[kyusa | edit source]Mu 2018 Ogwomukaaga, Wadada yateeka omukono kundagaano ne kiraabu y'e Tanzania Azam F.C.[2]
Emirimu gye ku ttiimu y'eggwanga
[kyusa | edit source]Ng'akyali muvubuka
[kyusa | edit source]Nicolas Wadada yayitibwa omulundi ogwali gusooka ku ttiimu ya Uganda ey'abali wansi w'emyaka 20 eyitibwa ''The Hippos'' mu 2012 mu z'okusunsula ttiimu z'amawanga ga Afrika ez'abali wansi w'emyaka 20. Yazannya emipiira ebbiri nga battunka ne Mozambique. Mu mpaka zezimu yazannya nemugwebaakuba Ghana 3-1 mu Kampala mu luzannya olwali lusooka. Yatandika ne mugw'okudingana mu Ghana.
Mu 2013, yazannya emipiira ebbiri ku ttiimu ya Uganda ey'abali wansi w'emyaka 23.
Ku ttiimu enkulu
[kyusa | edit source]Wadada yayfuna okuyitibwakwe okwali kusooka ku ttiimu enkulu okuva ewa Bobby Williamson eyli omutendesi wa Cranes mu 2013. Yali omu kubasambi abaali ku ttiimu ya Cranes eyawangula ekikopo ekyetabibwamu amawanga okuva mu Buvanjuba ne mu masekati ga Afrika mu 2013.
Wadada yali omu kubasambi 23 abaasobola okugenda mu ezeetabibwamu amawanga okuva kulukalo lwa Afrika mu 2017 mu Gabon. Yatandika omupiira gunu, ng'ogwa Misiri yava ku katebe.
Yazannya emipiira gyonna omukaaga mu 2018 mu z'okusunsula Habaali bagenda okwetaba mu kikopo ky'ensi yonna nga battunka ne Misiri, Ghana ne Republic of the Congo.[3]
Wadada yateeba mu mupiira nga battunka ne Niger nga 2 Ogwomukaaga mu 2018 webaali mu mpaka ez'etabibwamu amawanga 3 (Three Nation Tournament) mu Niamey.
Ebibalo bye ku ttiimu gy'azze azannyira
[kyusa | edit source]Ttiimu y'eggwanga | Omwaka | Emirundi gy'azannye | Ggoolo z'ateebye |
---|---|---|---|
Uganda | 2012 | 3 | 0 |
2013 | 9 | 0 | |
2014 | 4 | 0 | |
2015 | 0 | 0 | |
2016 | 6 | 0 | |
2017 | 15 | 1 | |
2018 | 11 | 0 | |
2019 | 3 | 0 | |
Omugatte | 51 | 1 |
Engule z'awangudde
[kyusa | edit source]Mu kiraabu ya Vipers SC
- Liigi ya Uganda ey'ababinywera mu 2014–15 ne 2017–18
- Uganda Cup mu 2015; baakwata kyakubiri mu 2013 ne 2018
- Super Cup mu 2016
Ku ttiimu ya Uganda
- Ekikopo ky'empaka eziwakanirwamu amawanga okuva mu Buvanjuba ne mu masekati ga Afrika mu 2013 ne 2016
Ebijuliriziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 Nicholas Wadada at National-Football-Teams.com
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-06-18. Retrieved 2023-07-01.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://fifa.com/