Nick Nola

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Nicholas Tatambuka yazalibwa mui mwezi ogw'omusanvu mu 1985 ,[1] amannyikiddwa nnyo nga Nick Nola ne Nicky Nola ng'amannya gge ag'okusiteegi, munayuganda ayimba enyiba ekika kya R&B n'okuziwandiika eyajja mukumannyikwa ng'omuzinyi eyali mu kibiina ky'abayimbi aba Hip Hop ekiyitibwa Canvas. Yakola endagaanoi n'aba Platinum Records, ekibiina kyasooka okujja mu kisaawe ky'okuyimba mu 2005 n'oluyimba oluyitibwa "Mother Africa", olwawangula ekirabo kya Best Hip Hop Single. Mu 2010, Nola yatekebwa ku lukalala lwa Ladybrille's olw'abayimbi 15 abaali batutumuse mu mwaka ogwo "15 African Breakout Artists of The Year". Mu 2013, aba HiPipo 5Star baamusengeka ng'omuyimba eyali akwata ekya 34 okubeera ow'etutumu mu buvanjuba bwa Afrika yokka.

Obulamu bwe obwasooka n'engeri gy'atambuddemu mu by'okuyimba[kyusa | edit source]

Nola yatandika okwagala eby'okuyimba ng'akyali mwana muto. Yatandika okuyimba ng'akyali musomero lya nasale ng'agegeenya abayimbi beyali asinga okwagala nga Usher, New Edition ne Boyz II Men. IMu siniya yeetba mu mpaka z'okuyimba eza All Kampala Original Song Competition ezaali ku Cine Afrik, n'awangula ekifo ekisooka. Yagenda okutikirwa ku Kitante Hill School, yali yatandika okulabibwa abafulumya ennyimba ab'enjawulo okwetoloola obuvanjuba bwa Afrika yonna.Mu 2004, Shadrack, eyali akulira Platinum Records, yazuula Nola n'amuwa endagaano eyokuyimbira mu kampuni ye efulumya enyimba.

Nola yafuuka omu ku bameba b'ekibiina ekiyitibwa Hip Hop Canvas, nga kyalimu GNL, Lyrical G ne Qute Kaye. Olutaambi lw'ennyimba lwebasooka okufulumya lwaliko ennyimba 14. Nola yalabikako mu nnyimba nga "First Love", "Sitakiwewe", "Hip Hop Party" ne "Mother Africa". Mu mwaka ogwaddako, Hip Hop Canvas yafuna ekirabo kya Best Hip Hop Single olw'oluyimba lwa "Mother Africa", nga baakwataganira wamu n'aba Jungle Beat okulikoodiinga "Yegwe", "Nkaaba" ne "Down Low" nga bali ne Mosh. Ekibiina kyafulumya n'oluyimba oluyitibwa "Brand New Day".[2]

Mu 2009, Nolayafuna endagaano okubeera ng'adukannyizibwa era ng'ayambibwako aba UGPulse.Ytandika okukola ku lutaabi lw'ennyimba lweyayita Honey Moon, nga yali pulojekiti y'ensi yonna eyalimu abafulumya ennyimba nga Swangz Avenue, GoodEnuf, Allan, Washington, Henry Kiwuwa ne Young Pulse. Olutaambi luno lwali lulina okuteebwa okugenda mu katale mu mwaka gwa 2011. Nola yafulumya oluyimba lwebayita "I Love The Way" ne "Marianna", nga zaafuuka za ttutumu Uganda n'ebweru. Nga 24 mu mwezi ogwekuminebiri mu 2010 akatabo ka , Ladybrille Magazine kaamuteeka mu namba 15 kulukalala lw'abayimbi abaali bavuddeyo mu mwaka "15 African Breakout Artists of the Year".[3][4]

Pulojekiti z'ennyimba[kyusa | edit source]

Mu 2012, kyalangirirwa nga Nola bweyali akola n'omuyimbi okuva e Nigeria Slim Burna okuddamu oluyimba lwe oluyitibwa "Oya Na" nga lwali lwakulabikira ku pulojekiti ya Honey Moon project. Oluyimba luno lwafulumizibwa Washington, nerutabulwa Lurssen Mastering era eyalutendeka mu Amerika . Mu mwezi ogw'okutaano nga 23 mu 2013 oluyimba luno lwakubibwako katono sekeendi 90 ku mikutu gya yintaneeti nga bayita DStv.[5][6][7]

Ekika ky'ennyimba[kyusa | edit source]

Entaambi z'ennyimba mu situdiyo[kyusa | edit source]

  • Honey Moon (lugya kufulumizibwa)

Vidiyo z'ennyimba[kyusa | edit source]

2010[kyusa | edit source]

  • "Marianna"
  • "I Love The Way" (featuring Bella)
  • "Sembera"
  • "Aliwa"

2012[kyusa | edit source]

  • "Mufunye"

By'awangudde ne byebamulonzeemu[kyusa | edit source]

Zzina Awards[kyusa | edit source]

 

Laba ne[kyusa | edit source]

 

  1. . Nick Nola has been involved in several high profile projects in the music industry in Uganda. He turned 25 years in July. {{cite news}}: Check date values in: |date= (help); Missing or empty |title= (help)https://web.archive.org/web/20180526112935/http://www.monitor.co.ug/artsculture/Entertainment/-/812796/1047656/-/2aqhau/-/index.html
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20141023092257/http://www.musicuganda.com/Nicky%20Nola.html
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220301130632/http://www.ugandandiaspora.com/performing-at-the-ugandan-diaspora-social-networking-event-nick-nola
  4. {{cite news}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20171027130154/http://ourmusiq.com/nick-nola-face-of-ugpulse-listed-in-top-15-african-breakout-artists-of-the-year-2010/1205/m.aspx
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20131211223812/http://www.dstv.com/News/Nick-Nola-and-Slim-Burna-s-Oya-Na-remix/54504/
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20160304001400/http://www.hipipo.com/people/81/Nick-Nola/bio/34/Nicky-Nola-The-New-Ugandan-R--b-Sensation
  7. {{cite news}}: Empty citation (help)https://archive.is/20141022202310/http://www.ugandaonline.net/red_pepper/view/9088/singer_nick_nola_thumped_over_babe