Ninsiima Ronah Rita

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Ninsiima Ronah Rita (yazaalibwa nga 31 Ogwokusatu 1978) Munnayuganda, munnabyabufuzi era munnamawulire eyali omubaka omukyala mu Paalamenti ya Uganda eyomwenda ng'akiikirira Disitulikiti y'e Kabale. Yawangula eyali minisita w'ebyobulimi Hope Mwesigye eyali akiikirira Konsitituwensi eyo okuva mu 1994 nga yamuwangulira mu kalulu akabonna nga 18 Ogwokubiri 2011 nga yadda mu kifi ekyo wakati wa 2011 ne 2016.[1][2] Rita teyalina kibiina oluvanyuma lw'okuwangulwa mu kalulu k'anakwata bedera y'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) eri Hope Mwesigye.[3][4][5]

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Rita yazaalibwa mu maka agalimu abakyala abasukka mu omu. Emisomo gye egya O-levo yagisomera ku Kigezi High School era yafuna Dipuloma mu bya Bizinensi okuva ku International Professions Academy mu Disitulikiti y'e Kabale mu 1997. Yakolera ku kitongole ky'obwannanyini ekya Kigezi Private Sector Promotion Centre n'oluvanyuma yegatta ku Kigezi radio mu 2000 gyeyaweerereza pulogulaamu eyatuumibwa "Ruhondeza". Mu 2005, Rita yafuna omulimu nga omusasi w'amawulire ku Radio West mu Mbarara nga tannafuuka munnabyabufuzi mu 2011.[2] Rita yawangulwa Catherina Ndamira Atwikiire ku kifo ky'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Kabale mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi mu 2016.[6][7][8]

Ebimukwatako eby'omunda[kyusa | edit source]

Rita yakwatibwa ekirwadde kya COVID-19 nga 7 Ogwomwenda 2021. Oluvanyuma lw'okusimatuka, kyagambibwa nti Rita yasalawo okuwayo obulamu bwe eri Katonda.[8]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijjuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1008133
  2. 2.0 2.1 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/how-they-beat-political-giants-to-win-ronah-ninsiima-1489526
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-15. Retrieved 2023-11-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://ugandaradionetwork.net/story/new-kabale-woman-mp-seething-at-womens-day-snub
  5. https://www.ugandanewsreleases.com/%EF%BB%BFninsiima-hopes-to-keep-kabale-woman-mp-seat/
  6. https://www.parliament.go.ug/news/5561/budget-committee-questions-role-eac-ministry
  7. https://nnn.ng/uganda-budget-committee-2/
  8. 8.0 8.1 https://chimpreports.com/ex-kabale-mp-turns-to-god-after-surviving-covid-19/

Ebijjuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]