Nisha Kalema
Nisha Kalema, Munnayuganda awangudde awaadi eziwera mu kuzannya, okukola n'okuwandiika firimu.[1] Yawangula awaadi ssatu ez'omuzannyi wa firimu asinze mu za Uganda Film Festival Awards mu 2015, 2016 ne 2018 olwa bye yakola nga: Grace mu firimu ya The Tailor, Amelia mu firimu ya Freedom ne nga Veronica mu firimu ya Veronica's Wish.
Okuzannya firimu
[kyusa | edit source]Kalema okuzannya firimu yakutamdikira mu kazannyo k'oku Ttivvi akaayitibwanga, It Can’t Be, akaalagibwanga ku WBS TV mu 2014. Omuteesiteesi w'akazannyo ka It Can't Be, Richard Mulindwa yamussa mu firimu endala eya Hanged For Love, mwe yazannya nga Jackie, omuwala omuto ataalina mikisa mu bya mukwano.
Kalema yazannyira mu firimu ye eyitibwa Galz About Town ng'azannya nga Clara, omukulembeze w'ekibinja ky'abakazi abeetunda. Yasiimibwa nnyo abaamulaba olw'enzannya ye ne bannamawulire ne bamuwandiikako nnyo.[2][3]
Hassan Mageye, omuteesiteesi wa firimu ya Galz About Town, yateeka Kalema mu kifo ky'omuzannyi omukulu ng'ayitibwa Grace mu firimu ya The Tailor eyazannyibwa mu 2015. Mu firimu ya The Tailor eno, mwe yawangulira awaadi y'omuzannyi wa firimu omukazi asinze mu awaadi za Uganda Film Festival Awards eza 2015 bwe yazannya ng'omukyala eyasalawo okusuulawo omwami we ne muwala we oluvannyuma lw'okukizuula nti bba yalina ekirwadde kya kookola.
Kalema yafuna awaadi ye eyookubiri ey'omukyala asinze okuzannya firimu mu mwaka mu mpaka za Uganda Film Festival Awards eza 2016 olw'ekifo kya Amelia kye yazannya mu firimu ya Freedom. Firimu eno yawangula awaadi mukaaga (6) n'okubeera firimu eyasinga ekifaananyi ekirungi ne firimu y'omwaka. Kalema yayongerwa okulabwa mu nsi yonna olw'ekifo kye yazannya mu firimu ya Freedom. Kalema ne banne baazannya firimu eno mu kivvulu kya Edinburgh Fringe Festival e Scotland ne mu Bernie Grant Arts Centre mu kibuga London ekya Bungereza mu Gwomunaana, 2017.[4] Kalema yali yeetaba ne mu kuwandiika firimu eno kyokka teyalagibwa ng'omu ku bawandiisi ku bipande, ku DVD ne mu 'theater' newankubadde nga yali asabye bakama be okumulaga ng'omu ku bawandiisi.[5][6]
Mu 2016, Kalema yazannya nga Prossy mu firimu ya Jinxed, Lee Krassner eya aba Ugandan Pallock era n'azannya nga Diana mu firimu ya The Only Son. Era yazannya ne mu kazannyo k'oku TV aka Yat Madit .
Mu 2018, Kalema yeetaba mu kuteekateeka n'okuzannya ng'omuzannyi omukulu mu firimu ya Veronica's Wish, mwe yazannya ng'omulwadde wa kookolo.[7] Yawangula awaadi ye ey'omuzannyi wa firimu omukazi asinze mu mwaka mu awaadi za 2018 Uganda Film Festival Awards era firimu y'emu yawangula awaadi mwenda(9) omwali: Firimu esinze ekifaananyi ekirungi, Dayirekita wa firimu asinze ne kigifuula firimu eyasinga okuwangula awaadi mu mwaka ogwo.[8]
Okusoma kwe n'obulamu bwe obw'omunda
[kyusa | edit source]Kalema pulayimale yagisomera mu St. Charles Lwanga Primary School e Matugga, ate siniya n'agisomera mu Oxford Muslim High School, Kawempe Muslim School, Kalinabiri Secondary School, A-level n'agimalira mu Kampala High School mu 2009. Oluvannyuma yatikkirwa satifikeeti mu byamawulire n'okuwandiika ebiyiiye okuva mu ttendekero lya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education mu 2013.[9][5]
Firimu z'azannye
[kyusa | edit source]Omwaka | Erinnya lya firimu | Ekifo kye yazannya | Ebikulu ebyaliwo |
---|---|---|---|
2014 | Hanged For Love | Jackie | |
Galz About Town | Clara | ||
2015 | The Tailor | Grace | mwe yawangula ng'omuzannyi wa firimu omukazi asinze mu mwaka mu awaadi za UFF Awards |
2016 | Freedom | Amelia | |
The Only Son | Diana | ||
Ugandan Pollock | Lee Krassner | ||
Jinxed | Prossy | ||
2018 | Veronica's Wish | Veronica | mwe yawangula ng'omuzannyi wa firimu omukazi asinze mu mwaka mu awaadi za UFF Awards |
Omwaka | Erinnya lya firimu | ekifo kye yazannya | Ebikulu ebyaliwo |
---|---|---|---|
2021 | Juniors Drama Club (JDC) | TV series directed by Allan Manzi | |
2014 | It Can’t Be | WBS TV series | |
2016 | Yat Madit |
Omwaka | erinnya lya firimu | ekifo kye yazannya | Ebikulu ebyaliwo |
---|---|---|---|
2017 | Freedom | Amelia | Edinburgh Fringe Festival |
Bernie Grant Arts Centre |
Awaadi n'empaka mw'avuganyizza
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ http://uganda.watsupafrica.com/news/theflick-nisha-kalema-and-her-acting-career/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-24. Retrieved 2024-04-30.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-24. Retrieved 2024-04-30.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-10-20. Retrieved 2024-04-30.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 5.0 5.1 https://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Nisha-Kalema-footballer-fell-love-with-stories/689842-4781578-757pfhz/index.html Cite error: Invalid
<ref>
tag; name ":0" defined multiple times with different content - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-24. Retrieved 2024-04-30.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-24. Retrieved 2024-04-30.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.softpower.ug/full-list-new-drama-veronicas-wish-scoops-major-accolades-at-film-festival-awards/
- ↑ http://www.imdb.com/name/nm7268927/bio