Nkokonjeru
Nkokonjeru | |
---|---|
Country | Uganda |
Region | Central Region of Uganda |
District | Buikwe District |
Elevation | Template:Infobox settlement/impus |
Abantu (2020 Estimate) | |
• Total | 10,100 |
Nkokonjeru town council mu Disitulikiti y’e Buikwe mu Central Region ya Uganda ng’erina ebyalo nga: Namaliiri, Kigulu, Mulajje, Naziwanga, Ndolwa, Buira, Bukasa, Wabiduuku, Nsuube ne Nkokonjeru Central. [1] Erinnya lya tawuni eno litegeeza "Enkoko Enjeru". [2]
Enkula y’ensi
[kyusa | edit source]Nkokonjeru ekunukiriza kilometres 9.9 (9.9 mi) ebugwanjuba bw’amaserengeta ga Buikwe, ekifo ekitebe kya disitulikiti we kiri. Akabuga kano kali mu kilometres 44 (27 mi), ku luguudo, mu bugwanjuba bw’amaserengeta ga Njeru, tawuni ekyasinze obunene mu disitulikiti. [3]
Kino kikunukiriza kilometres 55 (34 mi), ku luguudo, mu bukiikaddyo bw’obuvanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda. [4] Ensengeka za Nkokonjeru ku maapu ziri 0°14'22.0"N, 32°55'23.0"E (Latitude:0.239444; Longitude:32.923056).
Okulambika okutwaliza awamu
[kyusa | edit source]Nkokonjeru we waali ekiggwa ky'ennono Abaganda mwe baasaddaaka enkoko enjeru ng'omwaka gwa 1890 tegunatuuka. [2] Mu mwaka gwa1891, ba Faaza ba Mill Hill baatandikawo Ekigo ky’Abakatuliki mu kitundu ekyo. Laddu bweyagwiira omuti gwa ssaddaaka, abaminsani baakozesanga enku okwokya amatoffaali gebakozesa okuzimba Ekkanisa y’Ekigo. Oluvannyuma baazimba amasomero, eddwaaliro n’ettendekero ly’abasomesa. Okutuuka mu august wa 2009, ekigo ky’Abakatuliki e Nkonkonjeru kyalina abalokole abawandiisiddwa abasoba mu mitwaall45,000, [5]
Obungi bw'abantu
[kyusa | edit source]Mu mwaka gwa 2015, ekitongole kya Uganda Bureau of Statistics (UBOS), kyabalirira nti omuwendo gw’abantu mu Nkokonjeru wakati w’ogwo omwaka gwali 9,200. Mu mwaka gwa 2020, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bungi bw’abantu kyabalirira nti abantu b’omu kitundu kino baali 10,100. Ku bano, ababalirirwamu 5,400 (ebitundu 53.5 ku buli 100) baali bakyala ate ababalirirwamu 4,700 (ebitundu 46.5 ku buli 100) baali basajja. UBOS yabalirira nti omuwendo gw’abantu mu kibuga kino buli mwaka gukulira ku bitundu 1.88 ku buli 100, wakati w'omwaka gwa 2015 ne 2020. [6]
Ebintu ebikwata ku nsonga eno
[kyusa | edit source]Ebifo bino wammanga eby’enjawulo biri munda oba okumpi ne Nkokonjeru: [7]
1. 1. . Ofiisi za Town Council y’e Nkokonjeru
2. 2. . Essomero lya Nkokonjeru Church of Uganda Primary School
3. 3. . Essomero lya St. Paul's Primary School, Nkokonjeru
4. 4. . Essomero lya St. Peter's Secondary School, Nkokonjeru
5. 5. . Ettendekero eritendeka abasomesa e Nkokonjeru
6. 6. . Ettendekero ly'ebyemikono e Nkokonjeru
7. 7. . Eklezia ya Roman Catholic e Nkokonjeru
8. . Essomero lya pulayimale erya Stella Maris Boarding, Nsuube
9. 9. . Ettendekero lya Stella Maris, Nsuube
10. . Essomero lya st Alphonsus Demonstration
11. . Essomero lya St. Anthony Convent secondary school
12. Ekibiina kyobwanakyeewa ekya rural Agency for sustainable Development
13 . Ekibiina ky’obwegassi ekitereka n’okuwola ssente mu Nkokonjeru ekya Nkonkonjeru Savings and credit cooperative
14. .Ekitongole ky'ebyemikono ki mother Kevin vocation institute
15. . Oluguudo lwa Mukono–Kyetume–Katosi–Nyenga, luyita wakati mu mutawuni okuva ebuvanjuba okudda e bugwanjuba
16. . Eddwaaliro lya St. Francis Hospital Nkokonjeru, eddwaliro ly'abantu bonna nga lirina ebitanda 60 nga liddukanyizibwa Obulabirizi bw'Abakatuliki obw'e Lugazi [8]
Laba ne
[kyusa | edit source]Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | edit source]- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/646770-nalugo-s-gospel-proper-nutrition-starts-at-the-breast.html
- ↑ 2.0 2.1 http://www.newvision.co.ug/D/9/233/652818
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Buikwe/Nkokonjeru/@0.324508,32.9250066,11z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dded1f0932639:0xc64bd141115f53b3!2m2!1d32.9888319!2d0.3144046!1m5!1m1!1s0x177de7f776190e1f:0x1d3b14b968fb49a2!2m2!1d32.910938!2d0.249508!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Kampala/Nkokonjeru/@0.3061827,32.6107026,11z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbc0f9d74b39b:0x4538903dd96b6fec!2m2!1d32.5825197!2d0.3475964!1m5!1m1!1s0x177de7f776190e1f:0x1d3b14b968fb49a2!2m2!1d32.910938!2d0.249508!3e0
- ↑ http://www.newvision.co.ug/D/9/233/638561
- ↑ https://www.citypopulation.de/en/uganda/central/admin/buikwe/SC0531__nkokonjeru/
- ↑ https://www.google.co.ug/maps/place/0%C2%B014'22.0%22N+32%C2%B055'23.0%22E/@0.235034,32.922988,380m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.2394444!4d32.9230556
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1172273/nkokonjeru-hospital-ray-machine