Nnaabagereka Sylvia owa Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox royalty Sylvia Nagginda yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 9 mu mwezi ogw'ekuminoogumu mu mwaka gwa 1962 nga ye Nnabagereka oba kwiini wa Buganda, obwakaba obulina ebyafaayo mu nakuzabulijjo mu Uganda .[1]

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Nagginda yazaalibwa mu Bungereza mu mwaka gwa 1962 nga John Mulumba Luswata yeeyali kitaawe okuba e Nkumba, Entebbe , ate maama we ye Rebecca Nakintu Musoke[1] nga yakomawo u Uganda oluvannyuma n'akuzibwa bajjajja bbe ab'ekika ky'Omusu. Ye muzukului wa George William Musoke ne Nora Musoke ab'e Nnazigo mu ssaza ly'e Kyaggwe, n'Omutaka Nelson Nkalubo Sebugwawo ne Catherine Sebugwawo ab'e Nkumba. Alina bannyina basatu nebaganda bbe basatu .[1][2]

Akaseera ke[kyusa | edit source]

Sylvia yasomera ku Lake Victoria Primary School erisinganibwa Entebbe, Gayaza Junior School, ne Wanyange Girls School. Oluvannyuma lw'okumaliriza okusoma siniya, yagenda mu ggwanga lya Amerika okweyongerayo n'emisomo gye. Yafuna diguli ye eyasooka nga kuliko ebitiibwa okuva mu setendekero lya City University of New York, diguli ya 'Arts' okuva mu setendekero lya New York University, ne diguli ey'okubiri mu Arts mu by'amawulire okuva mutendekero lya New York Institute of Technology.

Obukugu bwe mu by'okukola[kyusa | edit source]

Sylvia yagenda okukola mu ofiisi eyali efulumya obubaka eri abantu n'okukola okunoonyereza mu kitebe ky'ekitongole ky'amawanga amagate ekikulu mu New York, ng'eyali awandiika enteeka teeka ezinaagobererwa ngali ne ne Maximus Inc., ate ng'akola yekka mu by'okwebuzibwako ku bikwatagana ku bantu n'okukulakulanya bizineensi ne kampuni ez'enjawulo. Akozesezza obukugu bwe mu bintu eby'enjawulo ng'okutuusa obubaka eri abantu, okunoonyereza ku by'enfuna eby'ebulamu bw'abantu n'okutuusa obuyambi eri abantu n'okukola ebintu ebitakomyawo magoba munsi yonna. Y'omu kubaatandikawo ekibiina ekiyitibwa African Queens and Women Cultural Leaders Network, ekiteeka esira kukukulakulanya obulamu bw'abakyala n'abaana ku semazinga wa Afrika". Ekikwatagana n'ebitongole okuli ekya African Union, eky'amawanga amagatte wamu ne gavumenti za Afrika.[3]

Nnaabagereka ayambako ku Kabaka's Education Fund okusobola okufuul eby'enjigiriza okubeera nga bituuka eri abaana abataliiko ayamba nga bayita mukubawa basale oba okusomera obweereere. Alwanirira okulaba nga wabeerawo eby'enjigiriza eby'amaanyi ng'ate birungi ng bituuka eri buli mwana ng'ate bitukana n'ebyetaago by'ekitundu.[4]

Nnabagereka ateeka esira erisinga ku by'okusomesa omwana ow'obuwala, nga wekyeyoleka ng'ayita mu mirimu gye egy'okubeera omubakja wa UNFPA, alwanirira eby'okusoma kw'omwaka ow'obuwala; Yali ne mu kibiina ekirwanirira okulaba ng'omukayala afuna okusomesebwa ekya 'Forum for African Women Educationalists' ng'era kino kitongole ekirwana okulaba ng'ekitonde ekika kifuna okwenyigira mu by'okusoma n'okuteekawo olutindo wakati mu by'emisomo eby'enjawulo. Nnabagereka mwegendereza nnyo eri eby'omuwangwa ne nono ebileetera omukyala okubeera maama omulungi oba omukazi mu Buganda, naye ng'ategeeza nti bino birima okukwatibwako mungeri emu nti omuwala talemesebwa kakisa kkono kakugenda kusomero n'asoma.[5]

Nga nnaabagereka oba kwiini, Sylvia akoze okumannyisa obulungi obuli mu kusomesa omwana ow'obuwala. Abulira nnyo ku by'okwesonyiwa obw'okwegadanga nga y'engeri yokka eyiza okulwanyisa akawuka kasiriimu n'okugezaako okukendeeza obuteeyagala mu bantu abawangaala n'obulwadde buno. Nnaabagereka ye muyima w'ebitongole eby'enjawulo, ng'ate y'akulira n'ekya ''Nnaabagereka Development Trust Foundation''. Akulembeddemu ne kawefube w'okugema olukusense, polio, tetenaansi n'enddwadde endala. Yeeyatamdikawo n'esomero eriyigiriza amazina erya 'Kampala Ballet and Modern Dance School eryasookera ddala mu Uganda.[4]

Ng'ayita mu kibiina kye ekya Nabagereka Foundation, Ekisakaate kya kwiini Nagginda's ekibeerawo mu luwumula lwa taamu ey'okusatu ng'eno bakubirayo enkambi, kibangudde abavubuka abasoba mu 30,000 mu Uganda okuviira ddala mu mwaka gwa 2008. Enkambi eno ebeerawo buli mwezi ogusooka mu mwaka ng'era ebeeramu abavubuka abali wakati w'emyaka 13 ne 18.

"Ekisakaate kya Nabagereka" kitegeeza enkambi ya kwiini, ng'esira basinga kuliteeka ku buwangwa bwa Buganda. Abavubuka bayigirizibwa okubeera abakugu mu kuwaata amatooke, engeri y'okubuuzaamu mu buwangwa bwa Buganda, engeri y'okuzinamu amazina amaganda n'emirimu emirala mingi.

Abayigiriza era babategeeza okukubiriza abavubuka bano okubeenyumiririzaamu . Jennifer Musisi, Robert Kyaglanyi Ssentamu , Juliana Kanyomozi beebamu ku bayigiriza abaali babaddeko munkambi y'e ekisakaate mu myaka egiyise .

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw'okubeera mu ggwanga lya Amerika okumala emyaka 18, Sylvia yakomawo mu Uganda. Mu mwaka gwa 1998 yagwa mukwano ne Muwenda Mutebi II owa Buganda gwebaali bamazze ebanga ng'amwegwanyiza. Okugatibwa kwabwe kwalangirirwa ng'enaku z'omwezi 14 mu mwezi ogw'okubiri mu mwaka gwa 1999. Ng'enaku z'omwezi 27 mu mwezi ogw'omunaana mu mwaka ogwo gwennyini, yafumbirwa kabaka mu kanisa ya St. Paul's Cathedral ku kasozi k'e Namirembe, ekyamufuula kwiini wa Buganda eyali asooka mu Buganda mu myaka 50.[6] Ng'enakuz 'omweiz 4 mu mwezi ogw'omusanvu mu mwaka gwa 2001 mu kibuga London, nnaabagereka yazaala omwana we eyali asooka, omumbejja Katrina Sarah Ssangalyambogo, ekitegeeza ejjembe ly'embogo "buffalo's horn". Ye mukuza w'abaana ba kabaka abalala.[7]

Laba ne[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 {{cite web}}: Empty citation (help)https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230129231726/https://www.buganda.or.ug/nnabagereka
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.newvision.co.ug/news/646812-buganda-s-nnaabagereka-is-africa-s-gift.html
  4. 4.0 4.1 {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/+Sylvia+Nagginda++A+queen+touching+the+nation+s+very+soul/-/1370466/1499304/-/xq7yw5z/-/index.html
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)http://allafrica.com/stories/200309260060.html
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230320194544/https://observer.ug/entertainment-news/33508--15-years-ago-this-wedding-shattered-ugandan-records
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/60-years-in-the-life-of-a-Kabaka/691232-2683592-10k6x7z/index.html