Nnakimu w’omumwa n’ekibuno

Bisangiddwa ku Wikipedia


Enfaanana ya nnakimu[kyusa | edit source]

Nnakimu w’omumwa n’ekibuno[[1]] kye kibinja ky’embeera ezizingiramu nnakimu ow’omumwa n’ekibuno ng’omuntu alina ekimu ku byo oba byombi. Nnakimu ow’omumwa y’oyo abeera ng’omumwa gwa waggulu gwesalamu era nga gusobola n’okweyuza okutuuka ku nnyindo waggulu. Ekituli kino kisobola okubeera ku ludda lw’omumwa ogumu, gyombi oba mu makkati. Nnakimu ow’omumwa y’oyo omumwa ogwa waggulu we gubeereramu ekituli nga kigguka mu nnyindo. Nnakimu ow’ekibuno y’oyo aleetera ekibuno kya waggulu okuba nga kirimu ekituli ekigguka mu nnyindo. Ebizibu bino bisobola okuleetawo obuzibu mu kulya, okwogera, okuwulira n’okufuna endwadde z’amatu olutatadde.

Ebireeta obulema bwa nnakimu[kyusa | edit source]

Nnakimu ow’omumwa n’ekibuno abeerawo oluvannyuma lw’ebinywa ebikola ffeesi y’omuntu okulemererwa okwegatta obulungi mu kiseera ky’okutonda kw’omwana. Kino kye kimu ku bulemua obubeera mu baana abazaalibwa era nga n’ekikireeta tekimanyiddwa. Ebiyinza okussa omwana mu katyabaga k’okufuna ekizibu kino ye mukyala okunywa ssigala mu kiseera ky’olubuto, suukaali, maama okuzaala ng’akuze nnyo, omugejjo n’okukozesa eddagala erijjanjaba abo abeesika n’okugongobala. Ekizibu kino kisobola okukeberebwa ng’abasawo bakozesa ekyuma ekiwuliriza omwana ali mu lubuto.

Enzijanjaba ya nnakimu[kyusa | edit source]

Nnakimu asoboka okujjanjabibwa obulungi ng’omwana alongoosebwa. Bw’aba nnakimu w’omumwa, kikolebwa mu myezi emitono ng’omwana y’akazaalibwa ate ku nnakimu w’ekibuno, kikolebwa nga tannaweza myezi 18. Nnakimu ono alabikira mu baana 1-2 ku buli baana 1,000 abazaalibwa mu nsi ezaakula. Nnakimu ow’omumwa alabikira nnyo mu basajja akusinga bwe kibeera mu bakazi, so ng’ate ye nnakimu ow’ekibuno nga tekuli wa mumwa alabikra nnyo mu bakazi okusinga mu basajja. Mu mwaka gwa 2013 kyaviirako okufa kw’abantu abali eyo mu 3,300 mu nsi yonna okuva ku 7,600 abaafa mu 1990. Embeera eno gye buvuddeko yafaanaganyizibwanga omumwa gw’akamyu; wabula kati ekyo kitwalibwa ng’ekivumo.