Nusura Tiperu
Ambassador Nusura TIPERU Munnayuganda mukozi wa Gavumenti,Munnabyabufuzi ng'alina obumanyirivu n'obukugu nga Abaga amateeka mu Ggwanga n'Obuvanjuba bwa Africa. Ye mmemba omuvubuka omukyala okubeera mu Paalamenti ya Uganda oluvanyuma lw'okulangirirwa kwa Ssemateeka wa 1995.
Oluvanyuma y'akiikirira abakyala ba Yumbe mu Paalamenti ya Uganda era yali musinde nnyo mu kulwanirira n'okukuuma obutebenkevu mu Bukiikakkono bwa Uganda. Mulwanirizi w'amirembe.
Okuva mu 2007 okutuusa 2017, Ambassador Tiperu yaweereza ebisanja bibiri eby'omuddiringanwa ng'omu kuba memba omwenda abakiikirira Uganda mu Paalamenti y'Obuvanjuba bwa Africa eya 2 ne 3 (EALA) mu Arusha, Tanzania. Yalondebwa okuwereza mu kifo ekyo mu Gwomukaaga 2012 okumala emyaka etaano. Era yaweereza mu busobozi obwo okuva mu Gwomukaaga 2007 okutuusa mu Gwomukaaga 2012, mu biseera bya EALA eya 2.
Tiperu yasooka kulondebwa nnga Ambasada wa Uganda mu Tanzania nga y'akulemberamu okutumbula eby'obusuubuzi ** wakati wa Uganda ne United Republic of Tanzania. Oluvanyuma yalondebwa nga Ambasada wa Uganda mu Türkiye mu Gwekkuminebiri 2021.[1]
Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Yumbe, kitundu kya West Nile, mu Bukiikakkono bwa Uganda nga 21 Ogwekkumi 1974. Nusura Tiperu yasomera ku Mukono Town Academy mu Disitulikiti y'e Mukono mu misomo gye egya A-Levo, okuva mu 1992 okutuusa mu 1993. Oluvanyuma yayingira Ssettendekero wa Makerere, Yunivasite ya Uganda esinga obukadde, nga gyeyasomera essomo lya studied Social Sciences okuva mu 1994 okutuusa 1997. Yatikkirwa Diguli eya Bachelor of Arts mu Social Sciences.[2]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Okuva mu 1996 okutuusa mu 2001, yaweereza ng'omukyala omuvubuka mu Paalamenti, akiikirira abakyala abavubuka mu Uganda. Oluvamyuma y'alondebwa okuweereza ng'Omubaka omukyala mu Paalamenti akiikirira Disitulikiti y'e Yumbe okuva mu 2001 okutuusa 2006. Okuva mu 2007 okutuusa 2012, yaweereza mu East African Legislative Assembly mu Arusha, Tanzania, nga yali akiikirira Republic of Uganda. Mu Gwomukaaga 2012, y'addamu n'alondebwa okuweereza mu kifo ekyo okumala emyaka emirala etaano.[3]
Obuvunanyizibwa obulala
[kyusa | edit source]Ye Ssentebe w'ekibiina ky'abakyala abasiraamu ekya International Muslim Women’s Union. Era mmemba mu kakiiko ka Central Executive Committee ak'ekibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement, mu Uganda okutuusa mu 1986.[4] Nusura Tiperu Omar mufumbo. Amannyi ennimi zino wamanga: Olungereza, Oluswayiri, Alur, Aringa n'Oluganda. Okuva mu 2012 okutuusa mu 2015, yaweereza nga mmemba ku kakiiko ka EALA. Akakiiko "akakwasaganya ensonga za Paalamenti, okuteekateeka bizinensi ne pulogulaamu z'olukiko, n'okulonda ba mmemba abanatuula ku kakiiko".[5]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/nusura-tiperu-sent-to-ankara-as-museveni-appoints-new-ambassadors-3650544
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Government-names-14-constitutional-review-team-/688334-4860180-format-xhtml-oqbgl5/index.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20150217053913/http://www.newvision.co.ug/mobile/Detail.aspx?NewsID=631559&CatID=1
- ↑ https://web.archive.org/web/20150217062923/http://www.newvision.co.ug/D/9/803/730831
- ↑ http://www.newtimes.co.rw/section/article/2015-01-20/185120/