OBULIMI BW’EKINTABULI

Bisangiddwa ku Wikipedia

== OBULIMI BW’EKINTABULI==[AGOFORESTR Buno bwe bulimi bw’emiti n’ebirime ebibala, n’okulunda ebisolo. Obulimi buno bukendeeza obwavu butuletera okubeera n’emmere emala, bukendwe miti nebusobozesa amaeeza okutemwa kka okufuna enku okuva ku kibanja. Emiti gisika omuka gwa kabonidiyokisayidi okuva mu mpewo ate negifulumya okisigeni gwetwetaaa. Emiti gituwa enku, embawo, n’eddagala ly’ekinnansi. Omulimi afuna amata , ebibala, n’emmere okuva mu mimiro ye. Nayiturogeni eyongerezedwa mu ttaka n’emiti ayamba ebirime okukula obulungi. Emiti gikuumma ettaka obutakulugusibwa [soil erosion]. Obusa obuva mu bisolo bukozesebwa ku miti n’ebirime ebilala. Emiti giweereza abantu ate n’ebisolo eby’okulya . Amakoola g’emiti gakuuma ettaka nga liwewwevu. Egimu ku miti egiweereza ebibala mulimu Ovakado [Persea Americana] Ovakado awooma nnyo era alina ekirisa kya proteyini. Ekbala kyenyini tekirina munnyu, kirina potasiamu mungi ne vitamin B6, C, D, K ne E. Oyinza kumulya ng’ekibala k’yenyini oba nga saladi, nga supu,era oyinza okumukozesa nga ekizigo oba eddagala. Ayinza okutundibwa emitala wa mayanja. Omuti gw’omuyembe [Mangifera indica] nagwo gulina emigaso mingi nnyo.Gumanyidwa nga gutuwa emmere ate gutuwa en uba, awamu n’ekisikirizze. Gugumira omusana awamu n’amataba. Ensigo y’omuyembe eyinza okukozesebwa nga eddagala ly’akafuba, omusujja n’ekiddukano. Omuti gwa Kalwenda ogumanyiddwa nga Guliveliya [Grevillea robusta] guno nagwo gurina emigaso mingi ddala, gukula mangu ne gutuuka mita nga amakumi abiri. Gulina emilandira egigenda wansi mutaka, n’olwekyo gifuna emmere yagyo mu bwangu. Tugikozesa mu kukuuma empewo nokutuwa ekisikirize. Amatabi gaagwo tugakozesa nga nakavundira. Omuti ogwo gutuwa embawo ,n’enku Omuti gwa Kawoomera mbuzzi[Calliandra] [Calliandra Calothysus] nagwo gwa mugaso nnyo. Guno omuti gukula mangu , tegumala banga ddene , gukuuma ettaka obutatwalibwa n’amazzi era gwongera Nayitulogyeni mu ttaka. Emiti gino giyinza okukozesebwa nga olukomera lwa makka oba ekibanja. Gutuwa emmere y’ebisolo byetulunda awaka awamu n’enku. Bwogutemako obutabi gusobola okutojjera neguleeta amakoola amalala. Omuti omuzimba ndegeya [ Sesbania, River bean or Eyptian rattle pos] [ Sesbania sesban] nagwo gukula mangu nnyo. Gwongerra nayitrogyeni mu ttaka, gukuuma ettaka obutatwalibwa n’amazzi oyinza okukungula amakoola mu myezi nga mu naana nga gyiyiseewo n’oliisa ebisolo. Bwe ggumala emyaka essatu gubeera n’emigaso emirala nga eddagala. Omuti guno mulungi mu kutuwa enku mu bbanga ettono ddala emyezi nga munaana okutuuka ku mwaka gumu. <ref: Uganda@viagroforestry.org>

   Joyce Nanjobe Kawooya