OBUTONDE BW’ENSI

Bisangiddwa ku Wikipedia

==OBUTONDE BW’ENSI== [ENVIRONMENT] Obutonde bw’ensi bwe uba tubwogerako, tuba twogera ku bintu bino wammanga, Ettaka, ebimera, ebiwuka, ebisolo, amazzi nga mwotwalidde ennyanja ne migga,, empewo, ebinyonyi, akasana, amayinja, enzikiza n’ebirala. Ettaka liba n’obulamu wewaawo naye mu buttoned si kiramu. Ettaka lifa, sso ate Ettaka lisobola okulamuka oba oyinza okukiyita okuzuukira. Ettaka liri mu bika ebiwerako, era wammanga bino bye bimu ku nika byalyo. Eriddugavu, Erya kiwugankofu, Erya kikuusikuusi, ery’oluyinjayinja, ry’ekikasima, lino liba lyetabiseemu ettaka elirina langi enjeru ng’ennoni, n’ebika ebiralalala. Olw’okuba ng’ettaka liba n’obulamu ate nga liri mu bika eby’enjawulo, omulimi aba asana okumala okwetrgerwza nga tannatanula kukekeza nkumbi , oba ng’ettaka kw’genda okulima ddamu era nga teyeerabira kusooka kwetegereza kika ki eky’ettaka kw’agenda okulima, na kika ki eky’ekirime ky’agenda okusimbawo. Kiri nti ssi buli ky’oyagala okusimba nti kidda ku buli kika kya ttaka, osobola okusiika okwebuuza ku mukugu oba omulimisa , n’kuyambako okukebera ettaka eryo.Mu kukuwa ku magezi, oyambibwako obutayonoona biseera, amannyi, oboolyawo n’ensimbi, ku ttaka eritazza ky’ogenda kusimako. Sinakindi okukuwa amagezi okubaako by’oyongera mu ttaka, osobole okulituusa ku mutindo ogugwanira ekirime ky’oteekateeka okusimba. Ebimera bye bimu ku bintu ebikola obutonde bw’ensi, era nga muno otwaliramu , ebika by’emiddo ebiwerako, enva, emmere mu bika eby’enjawulo, emiti n’ebirala. Emigaso gy’ebimera mingi ddala omuli okuliisa abantu ,ebisolo ate n’ettaka. Abantu bye bimu ku bikola obutonde bw’ensi. Abantu olwokuba nga balina ekitone eky’amagezi n’okutegeera okukira ku bintu ebirala, byonna ebikola obutonde bw’ensi, be bavunaanyizibwa ku kukuuma obutonde b’ensi obwo okulabia ddala nga tebutyoboolwa oba okusanaawo.

Ebisolo nabyo bye bimu ku bikola obutonde bw’ensi, nga we bitali obutonde bw’ensi bukosebwa kinene ddala, abantu ko ebimera eby’engeri zonna ssaako ettaka lyennyini.

Ebinyonyi okufaananako n’ebintu ebyo waggulu ebyogeddwako, nabyo bitwala ekifo kinene ddala mu kukuuma obutonde bw’ensi n’olwekyo bya mugaso nnyo. Ebiwuka nga waliwo ebiwuka eby’obulabe eri omuntu n’eri ebimera, naye nnabyo ku luuyi olulala bya mugaso nnyo eri obutonde bw’ensi, era nga nabyo birabirilwa omuntu obutasaanawo. Amazzi gano go mu kukuuma obutonde bw’ensi buli muntu akimannyi nti amazzi bwe bulamu, era oyinza okulowooza nti ge gatwala ekifo ekisooka mu kukuuma obutonde bw’ensi, naye nebintu ebirala ebikola obutonde bw;ensi byonna bya mugaso nnyo, wabula nti amazzi wegatali , obutonde bw'ensi buyinza okusaanirawo ddala. Empewo okufaananako ng’ebintu ebirala , empewo y’emu ku bintu ebikola obutonde bw’ensi, nga bw’ebulawo, abantu, ebisolo, ebinyonyi,ebiwuka, ebimera, ettaka, n’amazzi tebiyinza kubeerawo ng’empewo tebimala. Omusana nagwo gwa mugaso mu kukuuma obutonde bw’ensi , anti ggwe wamma ebisolo, abantu, ebinyonyi, ebiwuka, ettaka n’ebimera byonna wamu bifuna obusannyalavu obw’enjawulo singa tebifuna kabugumo. enzikiza okufaananako ng’ebintu ebirala, enzikiza nayo ya mugaso eri obutonde bw’ensi, si lwakuba nti bajjajjaffe nga bwe baagamba nti, Enzikiza kiyamba mumizi, naye ebitonde bingi ebyegazaanyiza mu nzikiza eyo. amayinja wattu wandiyinzizza okulowooza nti, amayinja okugyako okugazimbisa amayumba oba okugakozesa entaana oba amalaalo n’amakubo, nti teriyo migaso mirala, naye nno nago ku butonde bw’ensi galina emigaso , nga bwe gabulawo , omuntu oba n’ebintu ebimu nga bifuna obusannyalavu obw’enjawulo. Ensozinazo za mugaso nnyo eri obutonde bw’ensi era nga be zibulawo abantu n’ebintu ebrala bifuuna obusannyalavu obw’enjawulo. ebiwonvu nabyo bya mugaso , era mu ngeri yemu obtonde bw’ensi obutalimu biwonvu oba obukko, obutonde bw’ensi buba bwolekedde obuzibu bwo kusanawo. Kale nno awo tugamba nti omuntu n’ebitonde ebimwetoolosse bye bikola obutonde bw’ensi. <ref: www.wwf/lvceep> Joyce Nanjobe Kawooya