Jump to content

OBUYONJO

Bisangiddwa ku Wikipedia
Environmental Cleanliness

Obuyonjo z'enkola ez'enjawulo ezikolebwa okusobola okubaawo nga tuli balamu bulungi. Ekitongole ekikulira n'okulondoola ebyobulamu munsi yonna, 'World Health Organisation ' (WHO), kyo kinnyonnyola obuyonjo ng’enkola n'engeri ez'enjawulo eziyambako okwekuuma nga tuli balamu bulungi, ssaako n'okutangira okusaasaana kw'endwadde. So ng’ate mu buwangwa bwaffe obwa bulijjo, obuyonjo kitera kutegeeza kutukula butukuzi kye kyokka, naye ng'ekigambo buyonjo mu bujjuvu bwakyo n'ensibuko yaakyo, kizingiramu embeera n'enkola zonna, engeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe, gye tubeera, ssaako ebyo byonna bye tukola okusobola okuba n'obulamu obulungi era obweyagaza, eyo gye tubeera. Wabula mu nkola ez'ebyekisawo, waliwo omutindo gw'ebyobuyonjo ogutulagirwa okugoberera n'okukuuma mu mbeera ez'enjawulo, anti ekitwalibwa ng'obuyonjo kisinziira ku buwangwa bw'abantu abo, ekikula (mukazi/musajja) nga kw’otadde n'ebibinja by'abantu eby'emyaka egy'enjawulo.

Obuyonjo bw'ebyobujjanjabi/eby'ekisawo

[kyusa | edit source]

Buno bwe buyonjo obuzingiramu enkola z'ebyobuyonjo zonna ekikwata ku nkuuma y'eddagala, ssaako enzijanjaba eziyiza oba okukendeeza endwadde wamu n'okusaasaana kwazo. Muno mugwamu enkola z'ebyobuyonjo ng'okwewala okusemberera abalwadde n'ebintu ebiriko obulwadde, okusobola okwewala okubusaasaanya, okufumba ebyo ebikozesebwa abasawo nga balongoosa abalwadde, okukozesa ebyambalo by'okwekuuma gamba nga Ggawuni, obukoofiira, ebyambalwa ku maaso n'ebyomungalo (gloves). Era mulimu n'okusiba ebiwundu (amabwa) obulungi, okukuuma ebyo ebimaze okukozesebwa mu kujjanjaba, okutta obuwuka obuyinza okuba mwebyo ebinaddamu okukozesebwa n'ebirala.

Obuyonjo bw’omu maka wamu n'obwomubulamu obwa bulijjo

[kyusa | edit source]

Obuyonjo obw'ekika kino buzingiramu enkola zonna ezigenderera okuziyiza oba okukendeeza endwadde wamu n'okutangira okusaasaana kwazo mu maka gaffe, era ne mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. Mu bulamu obwa bulijjo,mulimu abantu be tubeera nabo buli wantu, eby'entambula ey’olukale, gye tukolera, era ne mu bifo eby’olukale byonna. Ekisinga okusaasaanya endwadde ewaka be bantu (abo ababa bakwatiddwa obulwadde), emmere (naddala embisi), okwo ssaako ensolo ze tulunda ewaka. Ebirala mulimu ebifo ebiregamamu amazzi, era nga kuliko ebifo nga mu kaabuyonjo, bippayipo ebikadde ebyayisibwangamu amazzi, amazzi agasigala ku byuma bye tuyonjesa, obugoye obwesiimuuzibwa n'ebirala.

Sustainable sanitation (8018761825)

Obuyonjo buno buyinza okukuumibwa nga tuyita mu nkola zino wammanga:

  • Okuyonja n'eddagala eriggyawo obuwuka obuleeta endwadde, nga tukozesa ebintu nga ssabbuuni n'ebirala ebigwa mu kkowe eryo.
  • Okukozesa eddagala eritta obuwuka buno, ne buba nga tebukyasobola kusaasaanya ndwadde, oba nga tufumba ebyo ebibaamu obuwuka ne bufiira ddala.

Ebiseera ebimu, ebikozesebwa okuggyawo obuwuka, bikozesebwa lumu n'eddagala eritta obuwuka okusobola okubuggyirawo ddala, gamba nga: okwoza engoye ne ssabbuuni, ate n'omala n'ozigolola, era n'okikola ne ku birala nga ttawulo n'eby'okubuliri ebirala.

Obuyonjo bw'engalo

[kyusa | edit source]

Obuyonjo bw'engalo butwaliramu okunaaba engalo bulijjo ne zitukula. Oba okunaaba engalo n'enjala ne bitukula ng'okozesa ssabbuuni n'amazzi amayonjo, oba okukozesa eddagala eritali lya mazzi, naye nga litukuza engalo n'okuziggyamu obuwuka. Okusingira ddala kino kigendererwamu okuziyiza okusaasaana kw'endwadde mu maka na yonna gye tubeera ne bannaffe. Mu bifo ebitaliimu mazzi era nga ssabbuuni tayinza kukozesebwa, eddagala erigoba obuwuka mu ngalo nga tokozesezza mazzi na ssabbuuni, ng'oyisa liyise mu ngalo likozesebwa. Ate mu bitundu ebitannakula, era ebyavu ddala, batera kukozesa vvu mu mbeera nga tewali ssabbuuni. Ekibiina ekikulira n'okulondoola ebyobulamu mu nsi yonna, kisemba/kiwagira okukozesa evvu okulongoosa engalo, naddala mu mbeera nga ssabbuuni taliiwo oba okukozesa omusenyu ogutukula ne bikola nga ssabbuuni mu kuggyawo obuwuka obwo bukasaasaanya ndwadde.

Obuyonjo bw'emmere

[kyusa | edit source]

Obuyonjo obw’engeri eno bufa ku nkola zonna ez'entereka, enkwata n'enfumba y'emmere entuufu. Obuyonjo buno butuyamba okuziyiza emmere okufuuka ey'obutwa mu emibiri gyaffe. Zino ze zimu ku nkola ez'enjawula eziraga enkwata, entereka, enteekateeka (entegeka, engabula) era n'endya y'emmere entuufu.

  • Okuyonja n'okutta obuwuka obusaasaanya endwadde mu bifo gye tutegekera ebyokulya nga kw'otadde n'okuyonja ebyo bye tukozesa nga tutegeka emmere yaffe.
  • Yawula emmere enfumbe n'eteri (embisi) kisobozese enfumbe obutakwatibwa buwuka.
  • Emmere gifumbire ekiseera ekimala eggye bulungi okusobola okutta obuwuka.
  • Emmere gitereka mu kifo ekirimu ebbugumu erimala/erisaanidde era n'okukozesa amazzi amayonjo.
  • Naaba engalo zitukulire ddala nga tonnakwata ku mmere mbisi ng'oli mu kufumba.
  • Tokozesa bintu(bikozesebwa, okugeza, ebijiiko, obwambe...) bye bimu ng'ofumba emmere ey'enjawulo.
  • Togabana (okuwaanyisiganya) ebikozesebwa mu kulya (wuuma, ebijiiko, obwambe...) okuva ku muntu omu okudda ku mulala nga tebimaze kwozebwa.
  • Lamba emmere naddala eyo enkole okuva mu makolero, okumanya lwe yakolabwa, na ddi lw'eneggwaako n'ekirala genderere w’oteeka emmere efisseewo.

Obuyonjo mu bujjanjabi obw'ewaka

[kyusa | edit source]

Kino kitegeeza ezo enkola ez'ekiyonjo ezikolebwa okuziyiza oba okukendeeza okusaasaana kw'endwadde ewaka nga tuyita mu kukozesa obulungi obujjanjabi obuba butuweereddwa okuva eri omusawo. Ezimu ku nkola ezo ze zino: Okukozesa obulungi eddagala nga bwe tulagiddwa omusawo wamu n'okusiba ebiwundu (amabwa) bye tuba tulina. Kino kituyamba okwewala obuwuka obutambuza endwadde.

Obuyonjo bw'omubiri

[kyusa | edit source]

Buno bwo buzingiramu enkola z'ebyobuyonjo zonna omuntu ze yeekolako okusobola okuba omulamu obulungi. Obuyonjo bw'omuntu buyinza okusinziira ku buwangwa obw'enjawulo ate n’ekiseera ekigere. Mu buwangwa obw'enjawulo buno bwe bumu ku bitwalibwa nga obuyonjo bw'omubiri: Okusalako enviiri n'okwemwa, okunaabanga bulijjo (lunye), okunaabanga engalo bulijjo naddala nga tonnakwata ku byakulya, okwambala engoye ezitukula, okusenya amannyo bulijjo, okusala enjala z'engalo n'ezookubugere n'ebirala. Naye obuyonjo bw'omubiri era obumu bwesigamizibwa nnyo ku kikula ky'omuntu, gamba ng'obuyonjo obusuubirwa abakyala okugoberera nga bali mu nsonga zaabwe ez'ekikyala ate nga kino tekiri ku basajja. Obuyonjo bw'omubiri obulala mulimu okubikka ku kamwa ng'okolola n'ebirala bingi. Ezo nno ze zimu ku nkola z'ebyobuyonjo z’osaanye okugoberera ennyo okusobola okubeera omulamu obulungi.