Jump to content

OKUBAKA OMUPIIRA

Bisangiddwa ku Wikipedia
Basketball players

Guno gwe gumu ku mizannyo egizannyibwa mu Buganda. Omuzannyo guno guzannyiwa bawala. Abawandiika ku byafaayo by’omuzannyo guno bagamba nti gwaggyibwa mu ogwo ogumanyiddwa ng’ogw’ensero, basketball mu mwaka gwa 1981. Amateeka g’omuzannyo gw’ensero gaakyusibwamu ne bafunamu omuzannyo omuggya ogw’okubaka omupiira.

Mu kusooka omuzannyo guno gwakkiriziwa ng’ogusaanira okuzannyibwa abawala/abakyala bokka. Okuvuganya era kwatandika okubaawo mu mawanga ag’enjawulo. Wabula nti okuvuganya wakati w’amawanga kwasooka kukaluba olw’okuba nti amateeka agafuga omuzannyo guno gaasooka kuba ga njawulo. Amateeka agafuga omuzannyo guno gaatereezebwa mu mwaka gwa 1960 era okuvuganya wakati w’amawanga ag’enjawulo kwatandika mu 1963.

Enzannya y’okubaka omupiira Omuzannyo guno guzannyirwa mu kisaawe ekikolebwa nga kya njawulo ku birala byonna era kyo kibeera kya muzannyo guno gwokka. Kirina ebipimpo byakyo ebirina okugobererwa nga kikolebwa era ne goolo zennyini wamu n’obutimba obuteebebwamu nabyo birina ebipimo eby’olugerero ebimanyiddwa wonna. Omuzannyo guno gumu ku ogwo ogwetaaga omuntu alina omubiri omulamu obulungi kubanga gulimu okukozesa obwangu n’obukugu ebisinziira ku kudduka (okuddusa akapiira), okubuuka (okubuuka n’akapiira baleme kukakuggyako oba ng’ogenda okuteeba), okukasuka n’okubaka akapiira.

Abazannyi babeera 12 ku buli ludda naye nga mu kisaawe buli ludda oluvuganya (tiimu) luleetamu 7 gwokka. Buli muzannyi alina ekifo mw’azannyira. Buli muzannyi ekifo kye kiragibwa n’ennamba gy’aba ayambadde mu lugoye mw’abakira; ennamba eno ebeera erabika mu maaso n’emabega. Ebifo ebyo bye bino: Omuteebi, omulumbi, abeera wakati, omuzibizi n’omukuumi wa goolo (aziyiza okuteeba). Wabula singa wabaawo abazannyi 5 (mu buli tiimu) ng’abalala tebannatuuka, omuzannyo gusobola okutandika abalala ne babasanga nga bagenda mu maaso.

Ekigendererwa ky’omuzannyo guno be bazannyi okuteeba goolo nnyingi ddala nga bwe kisoboka. Okuteeba kuno kukolebwa mu kitundu eky’enkulungo ekiyitibwa enkulungo ya goolo. Abazannyi babiri bokka mu buli tiiimu be bakkirizibwa okuteeba goolo era be bano: omulumbi wa goolo n’omuteebi.

Omuzannyo guno guzannyibwa mu bitunud 4 omubeera okuwummulamu era nga buli luzannya lumala eddakiika 15. Buli luwummulamu lumala eddakiika 3.

Era ng’emizannyo emirala gyonna, n’omuzannyo guno gulimu amateeka. Agamu ku go ge gano: obutalinnya ku kigere kya muzannyi munno, obutasukka ku lukoloboze lw’otalina kusukka. Amateeka ago bw’ogamenya oludda olukoseddwa luweebwa omukisa okukasuka akapiira nga tewali kuziyizibwa. Mu mateeka Malala muliu obutasiikiriza, obutatiisatiisa, n’amalala era gano gasobola okubonerezebwa n’okuweebwa omukisa okuteeba awatali kuziyizibwa. Waliw on’ebintu abazannyi bye batateekwa kuba nabyo gamba ng’ebikwaso, ebyokwewunda ng’ebyoku matu, emikuufu n’obutaba na njala nkulu. Omuzannyi singa agaana okugondera amateeka ago asobola okugaanibwa okuyingira mu kisaawe oba okuggyibwa mu muzannyo.

Omuzannyo guno bwe guba guzannyibwa abazannyi basobola okusikizibwa naye nga kino kibaawo ng’ekitundu ky’omuzannyo ekisooka kiwedde oba nga waliwo omuzannyi akoseddwa. Omuzannyo guno gunyumira nnyo abantu era gumu ku egyo egivuganyizibwako mu nsi yonna. Ensangi zino waliwo n’abasajja abeenyigira mu muzannyo guno weewaawo nga si bangi. Eri abo abaguzannya, emibiri gyabwe giba gya maanyi era nga miramu bulungi.