Jump to content

OKUBULWA OTULO

Bisangiddwa ku Wikipedia
Depiction of a person suffering from Insomnia (sleeplessness)

OKUBULWA OTULO (INSOMNIA) Eno y’embeera omuntu gyabeeramu nga tasobola kwebaka oba kwebaka ekyo ekigero ekisaanidde era nga kisobola okutwala ebbanga eddene gamba nga omwezi ba ennaku entonotono. Okubulwa otulo kiviirako, kasumagizi w’emisana, obunafu bw’omubiri, ekiyongobero wamu n’okulemererwa ekyo kyoba olina okukola okugeza nga okusoma. Ki ekiviirako omuntu okubulwa otulo? Ebintu bingi ebireetera omuntu okubulwa otulo era nga bye bino wammanga: Okweraliikirira, obunafu bw’omutima, ekikeeto, okukozesa ebiragalalagala gamba nga okunywa ennyo omwenge, okukozesa enjaga, amayirungi n’ebirala. Okukola emirimu gy’ekiro gamba nga obukuumi, okufuna obulumi obwenjawulo obwomunda ne kungulu gamba nga amabwa, okwekyusa kw’embiriizi mukiro (kino omuntu kimutuukako tamanyi wabula awulira obulumi bw’atategeera) Wewala otya okubulwa otulo? Osaanye wewale okukola dduyiro oba okunywa eby’okunywa ebirimu kaawa ayitibwa caffeine ekibuza otulo nga obuzaayo essaawa ntono nnyo webake wabula okukola dduyiro nga bukyali kirungi nnyo eri obulamu bwo. Funa essaawa zeweebakirako n’ezokuzuukukirako buli lunaku osobole okumanyiiza omubiri n’obwongo bwo. Ekisenge kyo kirina okubaamu enzikiza n’ebbugumu erisaanidde ate era n’obuliribwo olina kubukozesa mu kwebaka na nsonga za bafumbo byokka. Wabula tosaanye kwemanyiiza ddagala lileeta tulo nga kino ssi kirungi eri obulamu bwo.