OKUKUUMA OBUTONDE BWENSI NGA TUKEKKEREZAEBIFUMBISIBWA

Bisangiddwa ku Wikipedia

OKUKUUMA OBUTONDE BW’ENSI NGA TUKEKKEREZA EBIFUMBISIBWA NG’ENKU, AMANDA N’EBIRALA NGA TWEYAMBISA AMAGEZI AGEKIKUGU[kyusa | edit source]

Tukole ki okuwonya n’okukuuma ebibira n’emiti ebikyaliwo? Amawanga ga[Africa] yonna galina ekizibu ekyeyongera buli kiseera naddala buli embeera y’obudde lwekyukakyuka nga kiva mu kusaanyawo ebibira n’emiti. Buli lwe tutema emiti oba ebibira , tuba tuleeta ekizibu ku butonde bw’ensi. Nga – Ebitundu ebiri waggulu we’nsozi byononebwa okukulugguka kw’ettaka. Abantu mu byalo babonabona mu ngeri nyingi. Nga ze zino – Tebaba na mmere ebamala. Endya eba mbi nnyo. Tebaba na by’akuzimbisa, enku, embaawo, ebibajje n’ebiruke. Enfuna eba nnafu nnyo Ebisolo bibulwa omuddo Ekyokukola ng’embeera emaze okubeera etyo: Tulina okukendeeza okweyongera kwebibira ebisanyizibwawo Okukuuma n’okusimba emiti. Okukendeeza emirimo egikolebwa abakyala olwkusitula embeera yaabwe. Okusomesa abatuuze ne’bibiina engeri entuufu ey’okweyambisa emiti wamu n’ebirara. N’okukendeeza endwadde. Kisaanye kimanyibwe nga mu [Uganda] abantu 96 ku buli 100 beeyambisa miti mu byetaago byabwe ebyo’omumaka. Nolwekyo okukuuma emiti gino egikyaliwo kwe kukola amasiga agomulembe agakekkereza enku.

JoyceNanjobeKawooya

<ref> wwf/lvceep