OKULIMA OBUTUNDA

Tulina emirimu mingi omuntu wano mu Buganda gye yandyagadde okutuusaako engalo nga agenderera okunonyeza ekigulira magala eddiba okwo kwossa n'okulairira ab'ennyumba ye. Mu byonna nze obumanyirivu bwenina buli mu kulima ebirime ebyenjawulo omuli: obutunda, Ebitooke, Ennyanya, Lumonde n'ebirala bingi. Okulunda nagwo mulimu gwe ntaddeko amaanyi era nga ku mutendera ogwokufuna ssente wamu n'okulabirira amaka gange.
Olwaleero kansomese abo bonna abandyagadde okwetaba mu nsi y'abalimi b'obutunda wano mu Uganda, biki ebyetaagisa, obufunamu otya n'ebirala bingi nnyo.
OKULIMA OBUTUNDA
[kyusa | kolera mu edit source]Ekisookera ddala nga Omuntu tannalima butunda, ayina okusooka okumanya kika kya butunda ki kyagenda okulima n’engeri gyagenda okubulimamu saako n’akatale kaabwo. Wano mu Buganda, tulina ebika by’obutunda ebimanyikiddwa ennyo bibiri nga bwebutunda obuganda,obunnansi oba bwetuyita (local) era abasinga bwebayita obw’eMasaka saako nobutunda obuzungu. Ebika byobutunda bino byaawukana okuviira ddala ku nfaanana yabwo ssaako n'empooma. Obutunda obuganda busoosowazibwa nyo mu bitundu bya Buganda nemiriraano olwookuba buwoomu nnyo okusiingira ddala kubutunda obuzungu nga ne langi y’obusigo nakaloosa eyawukanira ddala.