OLWEZA

Bisangiddwa ku Wikipedia

Enfaana ne gye lusangibwa[kyusa | edit source]

Olweza gubeera muddo nga gulandira ku ttaka. Gubeerako obukoola butono n'obumuli obweru. Erinnya eddala ery'olweza luyitibwa Olubbula. Abantu batera okulusimba ku mbalaza oba n'okulufunira ekifo mu lusuku ne lutalizibwa. Abalala balusimba ebbali ku luggya.


Olweza n'Omuganda[kyusa | edit source]

Mu Buganda, olweza lutwalibwa okuba olw'omukisa. Luliko bingi ebiwanuuzibwa. Gulina n'emikolo kwe lukozesebwa.

  • Singa omwana yenna azaalibwa, mu kyogero ekimunaazibwa mulina okutabikibwamu olweza nga kino mu Buganda kiwanuuzibwa nti ebeera nsibuko ya mikisa mu bulamu bw'omwana oyo.
  • Singa omuntu yenna azaala abalongo, mu kibbo ky'abalongo mulina okuteekebwamu olweza wamu n'ebbombo olwo ne muteekebwamu n'essente.
  • Abalongo ne bwe baba basibiddwa, era mu kibbo mwe baterekeddwa mulina okuteekebwamu olweza.
  • Olweza terunaabibwa baana bato bokka mu kyogero wabula n'omuntu omukulu asobola okuluyenga mu mazzi n'aganaaba kubanga kiwanuuzibwa nti afuna emikisa.
  • Singa omuntu asibibwako mu kkomera amangu ddala nga yaakavaayo alina kusooka kunaaba mazzi omuli olweza, ebbombo wamu n'omwetango aveeko ebisiraani by'ekkomera n'emikisa gimweyunire. N'engoye omuntu oyo mw'aviiridde mu kkomera zirina okunnyikibwa mu mazzi ago agalimu olweza.
  • Omuntu omukulu naye asobola okunaaba olweza nga lugattiddwamu ebbombo wamu n'amata. Kino kye kiyitibwa ekyogo.

Ebirala ku lweza[kyusa | edit source]

Obutafaananako muddo mulala ogutwalibwa nga ogw'omuwendo ogunywebwa, olweza lwo lunaabibwa bunaabibwa nga wano omuntu aluyengera mu mazzi n'alunaaba. Era kigambibwa nti omuntu akozesa olweza tateekwa kulunaabisa na kintu nga ssabbuuni wabula lunaabibwa lwokka. Abantu naddala abasawo abajjanjabisa eddagala ly'obutonde, olweza gwe gumu ku middo gye bakozesa olw'emigaso enkumu egirufumbekeddemu.