OMUSU

Bisangiddwa ku Wikipedia

OMUSU[kyusa | edit source]

Omusu gubalibwa mu bika by’obusolo obulya mu ngeri y’okumeketa oba okukesula ebimera. Gurya emirandira, enduli, amakoola, ebibala, amatabi, naddala omusu gurya nnyo ebikajo n’enkolokolo z’ebisagazi. Omusu gulina amannyo amoogi agakula nga gava mu kibuno ewala mu kiwanga. Kale olw’okugakozesa ennyo nga gikeketa gatera okukunguyira. Gakola gati ng’ate eno bwe gatutumuka, awo nno gakula ekiseera kyonna. Omusu guba n’omubiri mumpi wabula nga gwa lubasi. Omubiri gubikkiddwa obwoya obulangufu nga bumyukirivu eno nga bwetobeseemu ebibambya ebiddugavu. Okuva ku mutwe okumalayo omubiri guweza insi nga 12, omukira insi 5, ne guzitowa laatiri nga 15. Bwegiba emingi giyitibwa emisu era emisu gisangibwa mu nsiko enziyivu naddala mu nkolokolo z’ebisagazi. Gitera kulya kiro. Gikuba amakubo mu nsiko eno agayitibwa , ebyole. Muno mwe gitera okwetiribooseza. Emisu gya ngeri bbiri, emyene n’emmangala. Emyene giba minene nga mikazi, emmangala misu mitono nga n’okusinga giba sseddume. Nazikuno ng’Abaganda bayaayanira nnyo okulya ennyama y’omusu era mu bisolo ebiyiggibwa eno ye yabanga ku mwanjo. Kyabanga kya mpisa abaami ba Kabaka okubeeranga n’abayizzi ab’enkalakkalira abaabayiggiranga emisu. <ref:Fountain publishers>

for more details, visit Musu Website : www.ekikakyomusu.org

   Joyce Nanjobe Kawooya