OMUTIMA OKULEMERERWA
OMUTIMA OKULEMERERWA
[kyusa | edit source]Eno y'embeera etuukawo ng’omutima tegukyasobola kutambuza omusaayi nga bwe gubeera gwetaagibwa mu mubiri. Obumu Ku bubonero bw'obuzibu buno: omuntu asa omukka ng’abaka mubake, okuwulira obukoowu ekiyitiridde, n’okuzimba amagulu. Akabonero akalala katera okubeera okuwulira nga tolina busobozi kukola dduyiro. Ekirwadde kino tekitera kuleeta kulumizibwa mu kifuba.[1] Ekimu ku bireeta obuzibu buno kwe kukozesa ennyo omwenge omungi. Waliwo n’endwadde endala nnyingi ez’enjawulo eziviirako okulemererwa kw’omutima. Okukebera omusaayi okuyitibwa " electrocardiograph " ne "Chest radiograph " mu lulimi lw’ekisawo bye biyinza okusinziirwako okulaba ekiviirako omutima okulemererewa era obujjanjabi obuweebwa omuntu businziira ku kiba kizuuliddwa. Abantu abali Ku bujanjabi obw'omutima babeera balina okuva ku ssigala, omwenge okukola dduyiro n'ebirala ng’abasawo bwe balagira. Oluusi, omuntu asobola okuteekebwamu akuuma àkayitibwa "Pacemaker" okusobola okuyamba Ku mutima gwe okutambuza omusaayi. Era mu ngeri endala singa obwetaavu bubeera bw'amaanyi nnyo omuntu asobola okuteekebwamu omutima omulala oba "Cardiac resynchronization therapy" (CRT). Abantu bangi bafuna nnyo obuzibu buno obw’okulemererwa kw’omutima. Obujjanjabi bw’omutima bwa buseere era bangi abatasobola kufuna bujjanjabi buno bafa. Waliwo n’abafuna obulwadde buno naye obujjanjabi ne butabakolera era nabo ne bafa. Mu nsi ezikyakula abantu ebitundu bibiri ku buli kikumi balina obuzibu buno era nga mu bano abasinga babeera basukka emyaka 65. Kino kyeyongedde okuva ku bitundu mukaaga ku buli kikumi okutuuka ku bitundu kumi ku buli kikumi buli mwaka. Akatyabaga kano kazingiramu n'obulwadde bwa Kookolo era nga e Bungereza, abantu ebitundu bitaano ku buli kikumi abatwalibwa mu malwaliro balina obuzibu buno. Ekimu Ku biviirako omutima okulemerererwa lwe luuyi olumu olw'omutima okulemererwa. Nga bwe kiri nti omutima gwawulwamu enjuyi bbiri okuli oluuyi olwa kkono n'olwa ddyo nga enjuyi zino zombi zirina kukolera wamu okutambuza omusaayi wabula singa oluuyi olumu lulemererwa olwo n'olulala terusobola kutambuza musaayi.