Jump to content

Obugobansonga (Dialectics)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Dialectical behavior therapy

Gakuweebwa Muwanga !! Obugobansonga kitegeeza ky'ekimu n'eggobansonga . Obugobansonga kiraga "enneeyisa ey'okugabensonga (okunoonya amazima oba ekituufu ) . Eggobansonga(Dialectics) kiva mu bigambo bya Luganda "essomo erigoba ensonga".Eggobansonga kwe kukontana okutwala entabaganya mu Maaso.Mu kukubaganya ebirowoozo okugoba ensonga kitegeeza:

  (a) Okunoonya okumanya
  (b) Okunoonya amazima
  (c)Okunoonya    ekituufu
  (d)Okunoonya enjawulo eri mu bifaanagavu n’obumu bw’ebyawukanu
  (e)Okunoonya obumu bw’ebikontana
  (f) Okwekebejja ensonga okuva ku buli ludda oba okuva ku nsonda ez’enjawulo

Eggobansonga(dialectics) n’olwekyo ssomo erikwata ku nsonga ezo waggulu.


(ii) Omugobansonga(Dialectician)


Toyinza kunnyonnyoka mulamwa gwa “ntabaganyabantu”( society) nga tofunye kutegeera mulamwa gwa ggobansonga (akakwate ak’ensonga akali ku buli kintu n’ekirala mu butonde). Eggobansonga (dialectics) kikwata ku bumu bwa kukontana okuli mu butonde ne mu ntabaganya, ekikuumira buli kintu awamu.