Jump to content

Obukontanyo(Protons)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Charles Muwanga

PROTON

Akakontanyo (Proton) era akayitibwa mu bumpimpi “konta” katinniinya(=kasirikitu akatini ennyo) ,ke kamu ku butoffaali obusatu era obuyitibwa obutonniinya bw'akaziizi (sub atomic particles). Akakontanyo kakontana n'akasannyalazo kubanga ekisannyalazo kyako ekya pozitiivu kiri mu kukontana ne kyagi y'akasnnyalazo eya negatiivu.

Akakontanyo kalina ekisannyalazo(kyagi) ekya pozitiivu era kalina “enzitoya y’akaziba”(atomic mass) eya amu 1 (one amu). Obukontanyo bwe bumu ku butinniinya obuzimba akaziba(atomu). Awamu ne nampawengwa (neutrons), busangibwa mu kifo ekikwafuwavu ennyo ekiyitibwa obuziizi(nucleus).

Omuwendo gw’obukontanyo gwe gusinziirako kika kya nkyusabuziba(chemical) ki ekikolebwa akaziba . Ekinnyonnyozo kino kikulu nnyo era kiweebwa erinnya ery’enjawulo erya “namba y’akaziba” oba “omuwendo gw’akaziba” (atomic number).

Akakontanyo (proton) kaba katinniinya akasirikitu (tiny particle), akatini ennyo okusinga akaziba. Obukontanyo butini nnyo era okusobola okukalaba wetaagisa “enzimbulukusa ey’obusannyalazo” (electron microscope) kyokka ate kanene nnyo okusinga “akasannyalazo”. Obukontanyo bwonna mu bwengula bwakolebwa nga okubwatuka okunenne kwa kabaawo. Okusooka tewaaliwo kintu kyonna. Waaliwo masoboza mangi agetadde gokka agatayaayaya wonna mu bwengula mu kikula ky’obupoto (photons =l ight) n’obutoniinya (larger particles) nga “bbosono”(bosons). Bbosono zino ezasooka zaalimu ttani ne ttani z’amasoboza era bungi ku bbwo ne bwekutulamu obukontanyo (protons) n’obukontanyo bwabwo (antiprotons).

Obukontanyo buno obusinga obungi oluvannyuma bwaggwamu amasoboza ne budda mu bbosono nate naye obukontanyo bw’obukontanyo (antipotons) bulabika okuba nga bulina we bwadda era enzitoya yonna mu bwengula eva mu bukontanyo buno obwafikkira. Obukontanyo bwonna mu bwengula bufaanagavu era nga bwonna busangibwa munda mwa atomu. Atomu ez’enjawulo ziba ne namba z’obukontanyo za njawulo; kino kye kifuula atomu emu okuba keriyamu, endala kaboni, zaabu, kkalwe oba mangeneezi. Kiva ku bukontanyo bumeka atomu bw’erina, si bika bya bukontano. Obukontanyo bwe bukola nnyukiriyasi oba ka tugambe amakkati ga atomu. Atomu esingayo obwangu ye ya kitondekamazzi kuba eno eba ne nyukiriysai erimu akakontanyo kamu kokka. Kyokka atomu ezisinga zirina obukontanyo obusukka mu kamu ne nampawengwa waakiri emu okubeera n’akakontanyo. Obukontanyo kyokka ate era bukolebwa obusitinniinya (elementary particles) obusingawo obutini obutalabika obuyitibwa “obukwaki” (quarks). Buli kakontanyo kalina obukwaka busatu, bubiri waggulu ate kamu wansi. Empliriro ya nnyukiriya ey’amaanyi ekwasawaza(bonds) wamu obukwaki . Enzitoya esinga ey’obukwaki eva mu mpalirizo y’obuziizi eya maanyi(strong nuclear force), si kwa bukwaki (quarks). Olw’okuba akakontanyo kaba n’obukwaki bubiri obuli waggulu n’akakwaki kamu akali wansi, akakontanyo kaba ne kyaagi ya pozitiivu okufaanana ne poola ya magineeti eya pozitiivu. Ebintu bibiri ebirina kyagi eza pozitiivu byesindikaganya buli kimu okuva awali ekirala, ekitegeeza nti obukontanyo mu atomu buba bwejja buli kamu ku kalala. Bwetaaga nampawengwa okubusikiriza okusigala awamu. Nampawengwa zino ziyamba okukuumira awamu obukontanyo nga zikozesa empalirizo ya nnyukiriya ey’amaanyi. Atomu esingayo obuzito mu butonde ye ya yulaniyamu nga eno erina obukontanyo 92. Ka kibe nampawengwa yadde empalirizo ya nyukiriya ey’amaanyi teyinza kukuumira wamu bukontanyo businga awo okusukka obutikitiki obutono ddala.