Obukwafuwavu(Density)
IALI NGO has been authorized by terminologist Muwanga Charles to post this article from his Luganda scientific works on Luganda wikipedia.
Obukwaafuwavu(Density). Omulamwa gw'Obukwafuwavu(density) guva mu kugattika ebigambo by'olugnada "obukwafu ekiwanvu".
Obukwafuwavu bw’enzitoya(mass density) oba obukwafuwavu (density) obwa matiiriyo oba sebusitansi kisonjolwa nga enzitoya yakyo ku buli namunigina ya volima . Akabonero k’obukwafu ye p .
Obukwaafuwavu bw’ekintu (density of an object) ye nakintu/nakabiri eba mu kibangirizi ekigere. Ekyokulabirako akatundu k’ekyuma kaba ne nakazimbira kintu munji mu buli yinsi ya kyekubisa (square) okusinga nakabiri ali mu yinsi kyekubisa ey’amazzi oba empewo n’olwekyo kikwafu nnyo okusinga amazzi oba empewo.
Obukwafu oba obukwafu bw’enzitoya(density) kiri mu buli kintu kubanga buli erementi n’ekipooli kirina obukwafu obw’enjawulo ku kirala. Obukwafu era kisnjolwa nga okuzitowa kw’ekintu ekirina volima entakyuuka(constant volume). Eky’okulabirako olwazi lukwafu okusinga ebipapula ebinyigiddwa awamu okulwenkana.
Entebe ey’omuti teba na bukwafu nga bwa ntebe ya kyuma. Obukwafu n’olwekyo kikwata ku ngeri ekintu gye kipakiddwa okumukumu. Mu essomabuzimbe bwa atomu(chemistry), obukwafu bwa sebusitansi nnyingi bugeraageranyizibwa n’obukwafu bw’amazzi (density of water). Ekintu kitengejja ku mazzi oba kikka . Singa ekintu nga ekipapajjo ky’olubaawo kitengejja ku mazzi , amazzi gaba gakisinga obukwafu(obuzito) kyokka singa ekyuma kikka mu mazzi , ekyuma ekyo kiba kikwafu okusinga amazzi. Woyiro bw’atengejja ku mazzi kino kiba kiraga nti amazzi makwafu okusinga woiro. Eno y’ensonga lwaki singa tanka ya woyiro etiiriika ku nnyanja , kiba kyangu okulongoosa amazzi ago nga gakokolebwa okuva kungulu kw’ennyanja.
Obadde omanyi lwaki omuzira gutengejja ku mazzi ? Omuzira(ice) yadde nga nagwo gaba mazzi agakutte ate ggwo guwewuka okusinga mazzi gennyini kubanga amazzi gagusinga obukwafu .
Okusonjola obukwafu mu kibalangulo.
Mu kibalangulo(mathematics) , obukwafu busonjolwa nga enzitoya buli namunigina ya volima(density is mass per unit volume) , mu ggulaamu oba cc . . . N’olwekyo :
Obukwafu = Enzitoya (g)
Obubangirivu(ml)
Osaana okimanye nti enzitoya ne obuzito miramwa gya njawulo. Enzitoya kipimo kya bungi bwa sebusitansi (matiiriyo) era nga , enzitoya y’ekintu tekyuuka mu buli kifo w’ebeera. Obuzito (weight) bugendana n’enzitoya (proportional to mass) naye businziira ku ndagakifo( ekifo ekintu we kiba kiri mu bwengula ). but depends on location in the universe. Weight is the force exerted on a body by gravitational attraction (usually by the earth).
Eky’okulabirako enzitoya y’omuntu eba ntakyuka(constant) naye bw’agenda ku mwezi obuzito bwe bukyuka ne bukendeera kubanga essikirizo ly'omwezi ttono nnyo okusinga essikirizo ly'Ensi . Essikirizo ly'omwezi liri kimu kya mukaaga (1/6) eky'esikrizo eryo ku Nsi . Mu bwengula omuntu ono ajja kuba nga talina buzito(eightless) kubanga mu buziba bw’obwengula tewali maanyimusikira mu nzitoya .
Okusobola okubalangula obukwafuwavu bw’ekintu kyetaagisa okumanya enzitoya(mass) , obubangirivua(volume) awamu n’ensonjola y’obukwafuwavu(density)
Obukwafuwavu bw’enzitoya = Enzitoya
Obubangirivu