Obulemu ku bwongo

Bisangiddwa ku Wikipedia


Enfaanana y’obulemu buno[kyusa | edit source]

Obulemu ku bwongo[[1]] kibinja kya bulema obw’olubeerera obukosa entambula . obulemu buno bulabika mu myaka gy’obulamu egisooka. Obubonero bw’ekizibu kino bwawukana mu bantu ab’enjawulo. Ebiva mu kizibu kino kuliko ebitundu by’omubiri okubeera nga tebikwatagana mu nkola y’ebintu eby’enjawulo, ebinywa okwesiba, ebinywa ebinafu, obuzibu mu kumira n’okwogera, okutya n’ebirala. Wasobola okubaawo era obuzibu mu ngeri obusimu bw’omubiri gye bukolamu, okulaba n’okuwulira. Abaana abalina ekizibu ku bwongp baba tebasobola kwekyusa, kutuula, kwavula oba kutambula nga kino kiviira ddala nga bakyali bato ddala. Okusanga obuzibu mu kulowooza n’okwesika birabikira mu bitundu kimu kya kusatu mu bubonero bw’endwadde eno. Wadde ng’obubonero buyinza okugenda nga bulabika ekiseera gye kigenda kyeyongera, naye ate byo ebizibu ebiva ku mbeera eno tebyeyongera kubijja luvannyuma lwa kiseera.

Ebireeta obulemu buno[kyusa | edit source]

Endwadde y’obwongo ereetebwawo enkula etali ya bulijjo oba okukosebwa ku bwongo obufuga entambula y’omubiri n’engeri gye gwenkanyankanya amaanyi mu bitundu byagwo eby’enjawulo. Ekizibu kino okusinga kibaawo mu biseera ng’omukyala ali lubuto, wadde ng’era bisobola okubaawo ng’omwana azaalibwa oba oluvannyuma lw’ebbanga ttono ng’omwana yaakazaalibwa. Ebiseera ebisinga ensibuko y’ekizibu kino temanyiddwa naye ng’ebimu ku biteeka omuntu mu katyabaga k’okufuna obulwadde buno kwe kuzaala omwana atatuuse, endwadde omukyala z’afuna ng’ali lubuto, okunywa ebitamiiza ng’ali lubuto, n’okufuna ekiwuggwe ku mutwe mu myaka gy’omuntu egisooka n’ebirala.

Obulemu bw’obwongo buno busobola okuziyizibwa okunga ng’omukyala agemwa era n’okukuuma abaana obutafuna buvune ku mitwe gyabwe nga kino kisoboka nga bassibwako obukuumi obw’enjawulo. Tewaliiyo ddagala liwonya bulema bwa bwongo wadde ng’eddagala erisobola okuyamba okutereezaamu lyo we liri. Ebiseera ebisinga ekizibu kino kisikirwa okuva ku bazadde. Omuntu asobola okumanyibwa ekika ky’obulemu ky’alina okusinziira ku buzibu bw’alina obulabika mu kiseera ekyo. Okugeza okwesiba kw’ebinywa n’obutakwatagana mu nkola y’omubiri. Okukeberebwa kusinziira ku nkula ya mwana oluvannyuma lw’ebbanga nga kino kikolebwa nga baggyibwako omusaayi okugukebera wamu n’okubakuba ebifaananyi mu malwaliro okusobola okuziyiza ebizibu ebirala ebiyinza okujjira ku bulemu buno.

Enzijanjaba[kyusa | edit source]

Okuweebwa eddagala n’okulongoosebwa bisobola okuyamba abantu bangi nga kino kitwaliramu okuzannyisa omubiri n’olulimi okukolebwa abasawo. Eddagala okuli diazepam, baclofen, ne botulinum toxin lisobola okuyamba okukkakkanya ebinya ebyesibye. Omuntu asobola okulongoosebwa okusobola okuwanvuya ebinywa wamu n’okusala emisuwa egiba gipika ennyo omusaayi. Ebiseera ebimu ebyuma ebiyamba ku bantu bano okukozesa emibiri gyabwe biba bya mugaso. Newankubadde nga waliwo eddagala ery’enjawulo erisobola okukozesebwa naye tewali bujulizi busobola kuweebwa kuwagira nkola yaalyo.

Obulema bw’obwongo obwoleka obutakwatagana na ntambula ya mubiri kisinga kulabikira mu baana bato. Kibaawo kumpi mu buli baana 2.1 ku baana 1,000 abazaalibwa nga balamu. Obulemu bw’obwongo butawaanyizza nnyo abantu okuviira ddala mu biseera eby’emabega. Ennyinyonnyola y’endwadde eno yalabikira mu biwandiiko bya Ba-Hippocrates mu kyasa eky’okutaano nga Yesu tannazaalibwa. Okusoma ku mbeera eno okwebuziba kwatandika mu kyasa eky’ekkumi n’omwenda nga kwatandikibwa William John Little. Enzijanjaba nnyingi zoogeddwako ng’eya stem cell therapy naye ng’okunoonyereza ku kyetaagibwa okusobola okumanya oba nga terina bulabe bw’ereeta ku muntu.