Obulimi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Emwanyi kilime kyamulembe mu uganda era abantu bangi bakyenyumirizamu nga ekyobugagga kyebalina munsi yabwe. Abantu abasinga obungi balima mwanyi naye emwanyi zaffe zafunamu obulwadde obuzikaza ekikolo wamu nobutabi. Naye twafunye omukisa okuva mu gavumenti ya uganda nga etuwereza abasomesa okuva mu uganda development authority naba kds. Era kundwadde bagezako nyo okutubulira engeri yokubulwanyisa nga. Tuteemako obutabi obukaze nga tubwokyera wenyini awali ekikolo kyemwanyi ekiba kikaze. Okusinzira kubakugu batutegeza emwanyi zetaga okulabilirwa saawa yona era zetaga nokutekamu ebigimusa nga npk wamu nenakavundira webisolo byaffe byetulunda awaka nga obusa bwente. Emwanyi zaffe tuzitekamu nensalosalo nga zituyamba okukuuma amazzi muttaka. Emwanyi tuzisalira wamu nokujjako ebiwakatilwa ebiyinza okuvirako emwa. emwanyi okukala nyi okufuna obulwadde. Omutindo gwemwanyi tugutukiliza nga tunoga emwanyi ezengedde zokka era netuzanika kumatundubali olwokwewala amayinja wamu nenfufu emwanyi okukala. Obulungi otekwa ozanikira enaku nga kumi nasatu oyinza okukozesa emakansu okulaba zikaze oba okulumako nga okozeesa amanyo. Okwanika batukubiliza twanike kumatundubali tusobole nokutukana nomutindo gwakatale akatale akensi yonna. Ensimba yemwanyi osima ekinya futi bbiri ku bbiri ate obuwanvu zibeera futi kumi kumi oba kumi nabbiri. byawandikibwa. Biwandikiddwa mugweri ismail 0782427461.