Obulungi bw'Okuyiga sayansi n'ekibalangulo mu Luganda n'Olungereza mu essomeso lye limu

Bisangiddwa ku Wikipedia

Bwe tuba nga tunayitimuka okutuuka ku mutondo gw'enkulaakulana mu bbanga ettono tulina okutandika nga essira tuliteeka ku kukulaakulanya ennimi zaffe ez'ekinnansi nga Oluganda mu miramwa egy'oluganda nga bwe tulaga egyo gye gikwatagana nagyo mu Lungereza.Lwaki?

Olungereza lwe lumu ku nnimi entono ennyo ezaakulaakulana edda mu sessomo zonna , omuli ne sayansi ne tekinologiya.Olungereza lwe lulimi lwa sayansi olw'ensi yonna. Nga bwe tukulaakulanya ennimi zaffe ez'ekinnansi mu miramwa egya sayansi, buli muwandiisi alabe nga omulamwa gwa sayansi ogw'oluganda alaga omulamwa gw'olungereza gwe gukwatagana nagwo.Eky'okulabirako omuwandiisi singa aba asazeewo kuwandiika ku kirwadde:


"ettalo"


Aba akoze kirungi naye olw'obwetaavu bw'abalala okwongera okunoonyereza ku mulamwa guno mu biwandiiko by'Olungereza , omuwandiisi yandibadde alaga mu "bukomera" erinnya ly'ettalo ery'olungereza , abasomi basobole okweyongerayo mu senkuluze ez'oluganda okunoonyereza ku sayansi akwata ku kirwadde eky'ettalo abasinga obungi wano kye bayita eddogo so ng'ate mu butuuf kino kirwadde ekireetebwa obuwuka obusirikitu nga bbakitiiriya olw'ensonga ezimanyiddwa obulungi era nga kiyinza okuziiyizibwa n'eddagala ezzungu.

Naawe yongera okuteesa ku kino!!