Obulwa bw’Akalulwe (Pancreatitis)
Enfaanana y’obulwadde buno
[kyusa | edit source]Kino kitegeza kulwala kwa kalulwe[[1]] era ne kaba kakosefu nga tekakyasobola kukola bulungi mirimu gyako. Akalulwe, katundu ka mubiri akasangibwa mu lubuto, emabega w’ebyenda era nga kakola ebirungo ebyenjawulo ebiyambako okugonza n’okukenenula emmere ng’etuuse mu lubuto.
Ebika n’obubonero
[kyusa | edit source]Obulwadde buno bulimu ebika eby’enjawulo, naye nga buleeta obubonero ng’okuwulira obulumi mu kabutobuto waggulu, okusinduukirirwa emmeeme, ssaako okusesema. Obulumi obw’amaanyi bwandyeyongerayo ppaka mu mugongo Ebirala ebitera okugoberera ebyo kuliko: okulwala omusujja, okuddukana, okuvaamu omusaayi, okulwala sukaali, sinakindi n’okukyankalana kw’ebitundu by’omubiri ebirala.
Ekibuleeta
[kyusa | edit source]Obulwadde bw’akalulwe obutera okumala akaseera akatono, buleetebwa nnyo okunywa ennyo omwenge. Mu birala mulimu, okufuna ekisagwo- gamba nga mu kabenje, eddagala erimu lye tukozesa, ebirwadde ebirala gamba ng’amambulugga(mumps) n’ebirala. Kyokka bw’obulwadde bw’akalulwe obutwala ekiseera ekiwanvu, butera kuleetebwa ebintu ng’okunnywa ennyo omwenge okumala emyaka egiwera, okubeera n’amasavu amangi mu musaayi, okubeera n’ekirungo kya “calcium” ekingi ennyo mu musaayi, eddagala erimu lye tukozesa n’ebirala. Naye ng’okunywa (okufuuweeta) ebintu nga sigala kye kisinga okwongera okukwatibwa obulwadde buno.
Enzijanjaba
[kyusa | edit source]Enzijanjaba y’akalulwe etera okuba ey’engeri ez’enjawulo, naye nga bwe kisukka batera okukalongoosa nebaggyako ebitundu ebiba biwadde ennyo. Obulwadde buno butera nnyo kusangibwa mu basajja okusinga mu bakazi. Era businga nnyo okukwata abantu okuva ku mwaka amakumi asatu(30) n’ana(40) era tebutera nnyo kusangibwa mu baana bato.