Obulwadde bw'Ebola
Enfaanana y’obulwadde buno
[kyusa | edit source]Ebola[[1]] kirwadde ekikwata abantu , ssaako ebisolo ebirala ebigwa mu luse lw'abantu, gamba ng'amazike, enkima n'ebirala, era ng'Ebola aleetebwa akawuka akayitibwa 'Ebolavirus'.
Obubonero
[kyusa | edit source]Obubonero bw'Ebola butandikira mu bbanga eriri wakati w'ennaku ebbiri (2) ne wiiki ssatu nga bumaze okukwata omuntu. Mu bubonero buno mwe muli: okufuna omusujja, okuwulira obulumi mu mimiro, okulumizibwa mu nnyingo z'omubiri zonna wamu n'omutwe oguluma. Ekirwadde kino bwe kigenda kyeyongera, ebintu ng'okusesema, okuddukana n'okubutuka kw'olususu bijja, era nga n'ebitundu by'omubiri okuli ekibumba n'ensigo biba binafuye nga tebikyasobola kukola bulungi mirimu gyabyo.
Mu kiseera ng'ekyo, abalwadde abamu batandika okuvaamu omusaayi mu byenda ne mu lususu, ekyongera enyo emikisa gy'okufa kw'omulwadde oyo, olw'okuggwaamu omusaayi n'amazzi mu mubiri. Embeera eno etera okubeererawo mu bbanga eriri wakati wa wiiki omukaaga n'ekkuminoomukaaga, ng'obubonero bw'Ebola bumaze okweyoleka.
Ebola asaanyizibwa atya?
[kyusa | edit source]Ssinga omuntu omulala omubiri gwe gukwataganako n'ebintu ebifuluma mu mubiri gw'omulwadde- gamba ng'omusaayi oba ebisesemye bye,awo kisoboka okukwata abadde tabulina. Ate mu ngeri endala, ssinga omuntu akozesa ebintu ebyagenzeeko edda obuwuka bwa Ebola, gamba ng'ebiriirwamu ob'engoye z'omulwadde. Kyokka n'omwana ssinga ayonsebwa nga nnyina ayina Ebola, omwana naye buba bumukwata. Kyokka era kirowoozebwa nti ekitonde ekiyitibwa 'Ekinyira'[fruit bat] kye kitambuza ekirwadde kino,newankubadde kyo kiba tekirina Ebola. Okukugira okubalukawo kw'Ebola kusaana okukwatiza awamu, wakati w'abasawo n'abantu bonna, nga muno mwemuli okuzuula amangu abo abateeberezebwa okuba nga bafunye Ebola ate n'okubassaako obujjanajabi n'endabiria ey'enjawulo, wamu n'okufa ennyo kw'abo ababadde babeera n'omulwadde oyo. Okufaayo ennyo ku nziika y'omufu w'Ebola, sinakindi n'okumwokya obwokya.
Engeri y’okubwewala
[kyusa | edit source]Engeri y'okubwewalamu kuliko okweziyiza okukwatibwa Ebola ava ku nsolo okudda ku bantu. Mu birala kuliko okwambala engoye ez'ekisawo eziziyiza omuntu kukwatibwa Ebola singa aba amuliraanye, oba okuliraana ebintu bye. Tewali ddagala ly'Ebola tongole limujjanjaba yadde erimugema, naye waliwo eryo eryeyambisibwa okumalawo ebyo ebola byaleeta. Ekyatuumya Ebola erinnya eryo y'ensonga nti bwasooka kugwa ku kyalo Yambuku ekiriraanye omugga Ebola.