Obulwadde bw’Embwa obuluma abantu

Bisangiddwa ku Wikipedia


Obulwadde bw’embwa obuluma abantu (Rabies)[[1]] buviirako endwadde y’ebizimba mu bwongo, mu bantu ne mu nsolo endala. Embwa bw'eba ndwadde ya bulwadde ate n'eruma omuntu, omuntu oyo afuna abulwadde bw'embwa obwo.

Obubonero[kyusa | edit source]

Obumu ku bubonero bw’obulwadde buno bwe buno wammanga: omusujja n’okujigiza ewakoseddwa era nga obubonero buno bugobererwa n’obulala nga okutya amazzi, okusanyuukirira okususse, okufuna obuzibu mu kwekyusa, okubuzaabuzibwa n’obulala bungi. Oluusi n’okufa nakwo kubaamu oluvannyuma lw'ebbanga eriri wakati w’omwezi ogumu okutuuka n'esatu. oluvannyuma lw’okulumwa embwa endwadde oba etali ngeme newankubadde obudde bw’okufuniramu obubonero buno buyinza okukyuka n’ebubaawo mu wiiki emu oba omwaka gumu nga kino kisinzira ku bbanga obusagwa ly’ebutambulira mu mubiri okutuuka ku nsibuko y’obusimu.

Obulwadde bw’embwa busaasaana ng'embwa endwade erumye oba eyagudde ekisolo ekirala oba omuntu. Amalusu agava mu nsolo endwadde nago gasobola okusaasanya obulwadde bw’embwa singa amalusu ago gagenda mu maaso, mu kamwa, oba mu nnyindo. Songa ate emmese tezitera kulumwa bulwadde buno. Akawuka akasaasaanya obulwadde bw’embwa katambulira mu bwongo nga kagoberera obusimu. Obulwadde buno bujjanjabwa oluvannyuma lw’okulaba obubonero obwo waggulu.

Engeri y'okuziyiza obulwadde buno[kyusa | edit source]

Okufuna ekumiro ly’ebisolo n’okugemebwa kw’embwa kukendezeza ku ndwadde y’embwa mu bitundu by’ensi ez'enjawulo. Okugema abantu nga tebannalumwa mbwa ndwadde kiziyiza okufuuna obulwadde buno. So ng'ate okwoza ekifo ekirumiddwa oba ekitakuddwa ne sabbuuni wamu n’amazzi okumala eddakiika kkumi na ttaano kiyinza okuyamba mu kutta obuwuka obumu obusaasaanya ekirwadde kino. Abantu batono abawonye obulwadde bw’embwa oluvannyuma lw’okulaga obubonero ng'era kibawo oluvannyuma lw’obujjanjabi obw'amaanyi obumanyiddwa nga Milwaukee protocol. Abantu 24,000 ku 60,000 be bafa obulwadde bw’embwa buli mwaka mu nsi yonna, nga era obulwadde buno buli mu nsi 150 okuggyako mu Australia, Canada, Japan, Amerika n'ebitundu bya Bulaaya eby'Ebugwanjuba.