Jump to content

Obulwadde bw’ensigo (Kidney stone disease)

Bisangiddwa ku Wikipedia


Kidney – acute cortical necrosis

Enfaanana y’obulwadde buno

[kyusa | edit source]

Obulwadde bw’ensigo kitegeeza obukutubba obulinga obuyinjayinja obumera mu nsigo z’omuntu ez’omu lubuto. Buno bwe buba bukyali butini tebuba bwa bulabe nnyo naye bwe bugejja buziba omukutu ogutwala omusulo oguba gusengejjeddwa okuva mu nsigo okugenda mu kawago, era ne kireeta obulumi obwamanyi wansi mu mabega oba mu kabutobuto. Era kino kiviirako n’okufuka omusulo ogulimu omusaayi, okusesema oba okulumizibwa ng’omuntu afuka (akunkumula). Omuntu ayinza okufuna akayinja akalala mu bbanga lya myaka nga kkumi (10).

Ekibuleeta

[kyusa | edit source]

Naye ensonga ezireetera omuntu okukwatibwa obulwadde buno ziba ziva ku nsonga za buzaale, oba ebyo ebiba bimwetoolodde. Ebiyinza okuleeta obulwadde buno kuliko ebintu nga: okuba n’ekirungo kya calcium ekisusse mu mubiri, omugejjo (okugejja ennyo), emu ku mmere eriibwa, kwossa eddagala erimu erimiribwa, wamu n’obutaba na mazzi gamala mu mubiri. Era akayinja kano kamera mu mubiri ng’ebirungo by’omusulo ogusengejjebwa mu nsigo bisusse obuka, nga tebiriimu mazzi gamala.

Obuboonero n’okukebera

[kyusa | edit source]

Okukebera obulwadde buno kisinziira ku bubonero obubaawo, naye nga bayinza okukebera omusulo, okukebera omusaayi oba okuteeka omulwadde mu kifaananyi ne balaba ekiri munda. Eri abo abaakwatibwa edda obulwadde buno, bakubirizibwa okubaako ebyokunywa bye banywa gamba ng’amazzi, okulaba nga basobola okufuka omusulo ogutakka wansi wa liita bbiri olunaku. Kino bwe kigaana, olwo waliwo eddagala eriba liyina okubaweebwa okuli eriyitibwa “Thiazide diuretic citrate” oba eriyitibwa “allopurinol”. Kyokka omuntu bw’akulamu akayinja ako naye nga tekayina kabonero konna ke kalaga, aba taweebwa bujjanjabi bwonna.

Ebibalo biraga nti abantu okuva ku kitundu kimu okutuuka ku bitundu kkumi na bitaano bakwatibwako obulwadde bw’ensigo buno mu bulamu bwabwe. Era mu mwaka 2013 abantu obukadde ana mu mwenda (49) baazuulibwa nabwo, era ne buttako abantu omutwalo gumu n’ekitundu (15,000). Naye okutwaliza awamu, obulwadde buno businga kukwata basajja.