Jump to content

Obulwadde bwa Asima (Asthma)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Asthma attack

Enfaanana y’obulwadde buno

[kyusa | edit source]

Asima[[1]] bulwadde obukugira entambula y’empewo egenda mu mawuggwe omuntu okusobola okussa obulungi. Kino kibaamu okuziyira okwa buli kiseera, omuli okufeekeera, n’okukaluubirizibwa mu kussa. Embeera eno esobola okubaawo okusinziira ku muntu, naye nga etera kusukka mu budde bw’ekiro oba ng’omulwadde oyo akoze dduyiro (physical exercise).

Engeri gye bukwata

[kyusa | edit source]

Asima akwata omuntu okuva ku nsonga ey’obuzaale bwe, oba ebyo ebimwetoolodde, gamba ng’okuyingiza omukka ogw’obulabe oba okukozesa ebirungo ebireeta “allergy” ow’ekika kyonna.

Enzijanjaba

[kyusa | edit source]

Naye ng’okukukebera Asima basinziira ku bubonero omulwadde bw’aba nabwo,ng’akozesezza eddagala okumala akaseera oba okupima entambula y’omukka ogufuluma n’oguyingira mu mawuggwe. Asima tawona, wabula asobola okukkakkannyizibwako ng’omulwadde yeewala ebintu ebiyinza okumuleeta, gamba nga ebyo ebireeta allegy, wamu n’ebinyiiza, era n’okukozesa eddagala erikendeeza obuzimbu bw’omubiri n’okwongera amaanyi mu mubiri eriyitibwa “Corticosteriods”. Wabula waliwo n’ebika by’eddagala ebirala ebiyinza okwongerezebwako ku Corticosteriods singa Asima aba yeeyongedde.

Obunene bw’ekizibu kya Asima

[kyusa | edit source]

Mu 2013, abantu abawererako ddala 242 baalina Asima ono, era abantu obukadde buna mu emitwalo munaana mu kenda(489,000) baafa mu mwaka ogwo. Embeera eno esinga kweyolekera mu nsi ezikyakula, naye nga Asima atera kutandikira mu myaka emito.