Jump to content

Obutaffaali n'Obutoffaali(Cells and particles)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ebola Virus Particles

Emiramwa eginnyonnyola enjawulo wakati w’akatoffaali n'akataffaali, okusinziira ku Muwanga gye gino:

Akatoffaali(particle) katono nnyo okusinga akataffaali(living cell). Ennyukuta “o” mu kigambo katoffaali ekkaatiriza obutono bw’akatoffaali yadde byombi akatoffaali n’akataffaali busirikitu obwetaagisa enzimbulukusa okusobola okubulaba n’eriiso eriri obukunya.

Okutwalira awamu gino gye miramwa  egyekuusiza ku bigambo ebibiri ebyo :

(i) Akatoffaali (Particle(katini nnyo okusinga akataffaali)

(ii) Akataffaali (cell (kanene okusinga akatoffaali)

(iii) Akatoffaali kazimbakintu ( the building block of matter)

(iv) Akataffaali kazimbakiramu (cell)

(v) Akataffaali kazimbamubiri (animal cell)

(vi) Akataffaali kazimbakimera (plant cell)

(vii) Obutoffaali kazimba buziba=Obutonniinya (subatomic particles)

(viii) Obusirikitu bw'akaziba ( subatomic particles)

(ix) Obusirikitu . (Muno mulimu )

• Nampawengwa(nampa) neutron(nyutirooni)

• Kikontana (konta) proton(piratoni)

• Akasannyalaza electron(erakitooni)

(x) Obutoffaali kazimba buziizi (proton and neutron)

(xi) Obutoffaali kazimbabwongo (neurons)

(xii) Obutaffaalikazimbabusimu (neuron))

(xiii) Obutaffaali kazimba kitangaala (photons(obupoto)

Akatoffaalikazimbakintu (the building block of matter) era kayitibwa atomu(obungi-watomu) . Akataffaalikazimbakintu nako kalina obusirikitu obukazimba, obuyitibwa obutoffaalikazimbatomu (subatomic particles). Obutoffaalikazimbatomu buli busatu Obusannyalaza, Konta, ne nampa.

Amakkati g’akaziba(atom) ge gayitibwa obuziizi (nucleus) era muno mwe musangibwa obusirikitu obuyitibwa nampa ne konta. Konta (Protons) ekiggwayo “kikontana” (opposite of) ne nampa, ekiggwayo “nampawengwa” (neutral) bwe busirikitu obukola obuziizi ya atomu .