Obuzimbe(Structure)


Obuzimbe (Structure)
Okusinziira ku Muwanga , kino kitegeeza obusitukiro bw’ekintu.
Laba obusitukiro(superstructure) . Obuzimbe(structure ) mulamwa gwa sayansi owa kakyo kano ekitegeeza obusitukiro bw’ekintu , ntegeeza, ensengeka y’ebitundu by’ekintu eby’enjawulo kwe kizimbirwa oba kwe kisitukira oba kwe kisitukira okulabika nga bw’oba okiraba. Obuzimbe era kikwata ku buzimbe bw’ebitundu by’omubiri ogw’ ekiramu n’ekitali kiramu oba obutundutundu , patiko oba obusirikitu mu kintu(sebusitansi) oba omubiri.
Obuzimbe oba obusitukiro kiyinza okukwata ku bizimbe, masiini n’ebintu ebirala ebikolebwa abantu awamu n’enjazi , minero, obuziba oba obutaffaali n’ebitundu by’ebiramu.
Obuzimbe bw’ekintu(physical structure) kikwata ku nkula oba obusitukiro byakyo bwonna . Kino kitwaliramu n’obuzimbe by’ekiramu ( the structure of an organism) ng’ekimera, ensolo oba omuntu .Obuzimbe bw’ekintu bwe buvaako endabiko yakyo.