Obwenkanyi mu mbeerabantu

Bisangiddwa ku Wikipedia

Obwenkanyi mu mbeerabantu butunuulirwa mu ngeri y'emu ng'obwenkanya mu mbeera bantu . Obwenkanyi mu mbeerabantu kitegeeza abantu okubeera n'emikisa egyenkanankana mu bwebungulule obutaliimu bulabe eri abantu.[1] [2]

Obwenkanyi mu mbeerabantu kimu ku bibeezaawo enkulaakulana. Mu 1996 abakulembeze ku kakiiko k’ebibeezaawo enkulaakulana mu Amerika kaayogera ku bwenkanyi mu mbeerabantu nga omwagaanya ogw’obwenkanya mu bulamu bwaffe.

Mu kkowe ery'Ebyenjigiriza, amatendekero aga waggulu gannyonnyola obwenkanyi mu mbeerabantu ng'omwenkanonkano mu mbeerabantu.

Obwenkanyi mu mbeerabantu bulimu enkwata y'ebyobugagga, okwenyigira mu byobufuzi, ebyobuwangwa n'ebyenjigiriza mu ngeri entuufu era etayonoona. Obwenkanyi mu mbeerabantu mulimu okutuukiriza obyetaago bya buli muntu mu ngeri efaayo ku balala n'obutabalumya.

Mu bufunze, obwenkanyi mu mbeerabantu butegeeza abantu okukola byonna bye bakola naye nga bafaayo ku balala mu ngeri zonna. Omuntu alina okuola kyonna ky'akola naye nga yeegendereza obutalumya oba obutakosa balala.

References[kyusa | edit source]

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Social_equity
  2. https://en.wikipedia.org/wiki/Social_equality