Ohio lamprey
Ohio lamprey kika kya kyenyanja ekisinganibwa mu bitundu by'Omugga Ohio mu ggwanga lya Amerika nga kyekika kyekyenyanja ekyefanannyiriza okubeera nga ekiwuka erireeta enddwade. Kitwalibwa okubeera ekika ekitalabika labika era ekitalika bulabe eri bantu mu masaza agamu, olw'enmbeera ng'amazzi g'emiga gazibikirwa omusenyu oba ettaka, okuyiwamu ebicaafu, wamu n'okuzimbako amabbibiro g'amasanyalaze.
Okukinyonyola
[kyusa | edit source]Buli kyenyanja ky'ekika kini kirina obubiri omuwaanvu, wabula nga tegulina bigalagamba. Eby'enyanja bino birina ebinywa ebyeyawulayawulamu nga birabika ku mubiri gwabyo nga biyitibwa myomeres,wamu nemimwa gyabyo egitalina mba. Muntandikwa y'okukula kw'eby'enyanja bino okumannyikiddwa nga ammocoetes, emimwa gyabyo gibeera teginavaayo bulungi, nga mitono, era nga gikwekeddwa olw'okubeeta nga ediba libeera lyefunyiza. Ebikulu bibeera n'emimwa egibeera emyetoloovu nga mulimu amannyo mabale nga kiva kukubeera ku kika kya kyenjyanja. Ekyenyanja ekika kino kirina ekiyefanannyiriza okubeera ekiwawatiro mu mugongo kimu ng'ate kiwanvu. Ekikuze obulungi, kituuka mu yiinchi 10-14, naye nga kisobola okutuuka mu yiinchi 15.
Byekirya
[kyusa | edit source]Eby'enyanja bino ebimannyikiddwa nga ammocoetes, bisengejja emere eyitibwa plankton, algae, wamu ne n'ebintu okuva mu by'obutonde eby'enjawulo. Nga ebikulu byeekwatira mu munyama onunene gamba nga smallmouth bass, walleyes, redhorse suckers, ne trout, nga birya ku musaayi n'ebintu eby'efanannyiriza amazzi wabula nga birimu omusaayi. Eby'ebya bino ebiannyikiddwa nga Ohio lampreys tebitera kuta byenyanja byebibeera byelipyeeko,olw'okubeera nga bikyuka n'ebyenyanja ebirala ebigwa mu tuluba luno. Olw'ensonga eno, tebirina mbeera yonna nzibu gyebireeta ku kubeerawo oba kubungi bwa byenyanja byebiba byekutteko.
Engeri gyebizaalamu
[kyusa | edit source]Nga ekyenyanja ekikulu ekibeera kimazze okulinyirwa ekisajja, kinoonya ekifo ekirungi wekiyinza okuzaalira. Era tebitera kuddayo mu bifo gyebaabizaalira oba gyebyateeka amaggi, naye nga kino kisigala tekigezeseddwa. Okuteekayo amaggi kubeerawo mu nkomerero y'Ogwokutaano nekutandikwa y'Ogwomukaaga, nga ebikulu bikolera wamu oba mu bibiri bbibiri okukolawo ekinya amazzi wegatasobola kuwagaanya bulungi ow'amayinja.Bikozesa emimwa gyayo egyefananyiriza nga ekikopo okugyawo amayinja okuva mu kifo amazzi wegatasobola kuwagaanya bulungi, olwo oluvannyuma ekyenyanja ekikazi nekibikayo amaggi mu kinya kino oluvannyuma lw'okwegata n'ekisajja. Buli kikulu oluvannyuma kifa nga bimaliriza okuteekayo amaggi.
Gyebisinganibwa
[kyusa | edit source]Eby'enyanja bya Ohio lamprey bisinganibwa okwetoloola mu mugga gwa Ohio mu masaza 11 okuli Alabama, Georgia, Indiana, Kentucky, New York, North Carolina, Ohio, Pennsylvania, Tennessee, Virginia, ne West Virginia. Eby'enyanja bino bisinganibwa mu saza lya Illinois, naye nga kati bitwalibwa okubeera nga byonoona; ng'era byesembayo okulabibwaako mu 1918.
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | edit source]
- https://web.archive.org/web/20130111034246/http://www.bio.utk.edu/hulseylab/Fishlist.html
- http://www.dnr.state.oh.us/Default.aspx?tabid=22725
- https://web.archive.org/web/20160304043929/http://fishandboat.com/pafish/fishhtms/chap4.htm
- http://ohiodnr.com/watercraft/tabid/2588/Default.aspx
- http://www.fs.fed.us/r9/wildlife/tes/ca-overview/docs/Fish/Ohio%20lamprey.pdf