Okudibaga okwakolebwa abafuzi b'amatwale(the distortions of colonialism)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Munnabyabufuna(Political economist) ayogera bwati ku kudibaga okwakolebwa obufuzi bw’amatwale(the distortions of colonialism).

Abazungu webajjira mu Buganda, ebyenfuna yaffe byali ku musinji gwa “bulimiro obutono” nga biyimiriddewo okusinga ku bulimi ku ttaka lya Buganda naye tetwalina baavu lunkupe na bawejjere abaliwo kati.

Okusooka bajja nga balambuzi, ne bazzaako eddiini, n’ekyasembayo kwezza teritoliya nga bakozesa amaanyi g’emundu etaali mu Afirika. Wano mu Buganda webaateeka ekifundikwa kya Uganda bazooka kuwangangusa Kabaka Mwanga ne bassaako mutabani we omulangira Daudi Chwa nga wa myaka esatu kino nekibasobozesa okukakaatika ku Baganda endagaano ya 1900. Endagaano eno yeyajjawo obwetwaaze bwa Buganda mu byobufuzi n’ebyenfuna kubanga ettaka Kabaka lye yali akuuma olwa buli Muganda lyagabanyagabanyizibwamu, ate Kabaka nagaanibwa okuba n’ejje erikuuma ensi ye awamu n’okusolooza emisolo emikulu egiyimirizaawo eggwanga eryetongodde.

Mundagaano eno okusinziira ku article 15 ettaka eriweza mailo 1500 eryebibira ne mailo eziri wakati wa 8,000 – 9.000 byaweebwa Kabaka wa Bungereza ate mailo nga 8,000 nekagabanyizibwa mu Kabaka abakungu be, ab’amasaza. Amagombolola, n’amadiini ag’enjawulo agaaliwo mukiseera ekyo.

Ebbanga Buganda ne Uganda okutwalira awamu gyeyamala ng’eri mu bufuzi bwa Bungereza ebintu bingi ebyakolebwa obufuzi bw’amatwale okudobonkanya ebyenfuna n’ebyobufuzi bwaffe mu lungereza kyewandiyise “the distortions of colonialism” muno mwalimu:

a) Okuzimba omusinga gw’ebyenfuna omufunda (narrow economic base). Abangereza baaleka omusingi gw’ebyenfuna omufunda ennyo.

b) Okwawulayawula mu Bantu, Okutambuliza eggwanga mu nkola ezawulayawula mu Bantu okusinziira ku buwangwa n’amadiini.

c) Okudibaga obwannannyini n’enkozesa yettaka

d) Okuteeka okwemanyamanya, emputtu, n’obutagambwako mu bakulembeze abaddugavu.

e) Obusosoze mu mawanga n’amadiini

f) Okkozesa obubi obuyinza, okudiibuuda, obulyake, obuli bw’enguzi, n’obunyunyunsi.

g) Enkwe (intrigue and formation of cliques).

h) Embeera y’ebyenfuna n’ebyobufuzi eyasiga obukyayi mu batali Baganda ku Baganda oba eri ba Nilotics eri Bantu people.

Mubutuufu obudibazi bw’obufuzi bw’amatwale bweyorekere mu byenfuna, ebyobufuzi, n’ebyobuwangwa bwaffe obw’omulembe guno. Mu byenfuna Afirika okutwalira awamu yafuuka omusiri omunene omwokujja ebirime ebyetaagisa okuriikiriza Yindasitule mu mawanga amagagga e Bulaaya. Ku ludda olw’ebyofuzi abangereza batukakaatikako enkola z’ebyobufuzi okuva e Bulaaya ezaali zitagya mu mbeera oba enkulaakulana y’abantu ba afirika.

Mu byobuwangwa tebaatukakatikako bukakaatisi lulimi lwabwe lyokka naye baaleeta wano empisa nnyingi zaabwe ezaali zikontana n’obuwangwa bwaffe.

Olwensonga ezo waggulu obutafaanana nga bwe kiri ku semazinga endala , Afirika mu kifo ky’okugenda mu maaso ezze eddirirabuddirizi.