Jump to content

Okufuma n'Okutalagga

Bisangiddwa ku Wikipedia
okutalagga
okufuma

Gakuweebwa Charles Muwanga .Okufuma (Corrosion) n’okutalagga (rust)

Ky’olina okusooka okumanya kwe kuba nti:

• Okufuma (corrosion) kwe kugubiisiira, okuva ku kkala eya bulijjo, okwononeka, oba okubumbulukuka kw’ebintu olw’ekikyusabuziba(chemical reaction) so nga ate okutalagga naye ngeri ya kufuma mu byuma.

• Okufuma era kikozesebwa okunnyonnyola okusesebbuka n’okusebengerera kw’ebyuma ebya buli kika ne matiiriyo nga polima (polymers) ne seramiki so ng’ate okutaragga kwe kufuma n’okusebengerera kwa kkalwe n’ebipooli bya kkalwe.

• Okufuma kuleetebwawo okuva mu mbeera okw’ebuziba olwa kemiko so ng’ate okutaragga kureetebwawo okuva mu mbeera okw’obuziba olw’amazzi oba obubisirivu (moisture) n’okuwokisa (oxidation).

Nga okukula bwe kiri ekintu eky’obutonde ekigenda mu maaso mu bulamu ku nsi, ekya kikontana, okunafuwa n’okufa nabyo bintu ebirina okubaawo mu nkyukakyuka z’obutonde, naddala mu biramu.

Okufuma kitegeeza ekintu okuva mu kkala yakyo eya bulijjo ne kitandika okusebengerera, okusesebbuka, okugenda nga kisaanawo oba nga kibula mpola. Nga bwe kiri mu biramu n’ebitali biramu binafuwa ne byonooneka oluvannyuma lw’ekiseera. Kino kiyinza okuva ku ntomeggana ez’ekikemiko(chemical reactions) oba okuva mu mbeera okw’obutonde olw’embeera gye biba birimu.

Okutaragga n’okufuma (corrosion) bintu bibiri ebigenda mu maaso ne bireetera ebintu okunafuwa, okusebengerera, n’okusesebbuka. Okufuma kubaamu enkyukakyuka ez'obuziba(chemical changes) ne kiviirako ekintu ekiteereddwa awo okwonooneka olw’embeera gye kibaamu ereetawo ekikyusabuziba(chemical reaction).

Ebyuma bye bintu ebisinga okweyorekeramu okufuma olw’okutaragga.Kino kigenda mu maaso mpolampola era kitwala ekiseera kiwanvu nga endagakintu esebengerera mu matiiriyo ezijikola, ekikireetera okuddirira n’okusesebbuka olw’okuwokisa (oxidation) kw’ebyuma nga okutomeggana kw’ekikemiko awali ensikirizo ya ekiwokisa (oxidant), naddala okisijeni.

Okufuma yadde nga kubaawo nnyo mu byuma, kuyinza okugenda mu maaso mu matiiriyo endala nga ebibumbe .

Ebintu ebitaterekeddwa bulungi biba biteereddwa mu mbeera ey’okufuma, ekintu oluusi ekitandika n’okukyusa kkala, olwatika olutono, okusebengerera oba okubumbulukuka okuyinza okugenda mu maaso mu kitundu ekineneko. Eky’okulabirako ky’okufuma kwe kugubiisira oba okuva mu kkala (discoloration) kw’ekisiige nga langi esiwuuka olw’okulekebwa mu mbeera etasaanidde. Yadde nga tewaliiwo kuwokisa(oxidation) kulabika, ebintu era biyinza okufuma singa biba birekeddwa wabweru mu mpewo.

Okutaragga kika kya kufuma ekibaawo mu kkalwe n’ebipooli bya kkalwe. Kkalwe bw’atomeggana ku mazzi oba empewo embisirivu (moist air), ebiwokiso bya kkalwe (iron oxisides) bitondekebwawo, ne bireetra matiiriyo okufuma n’okutaragga.Kino kiva ku kiwokiso(oxidation) n’empewo embisirivu(moisture), si bikemiko.

Ensobozeso endala eziyinza okuleetawo okutalagga mulimu omunnyo, salifokisaidi ne kab-okisaidi. Okutaragga kujja mu ngeri za njawulo naye engeri esinga okweyoleka y’ey’okutalagga okumyukirivu (red rust), okutondekebwawo ebiwokiso ebimyufu(red oxides). Kiroriini mu mazzi aleetawo okutaragga okwa kiragala (green rust).

N'ebiramu bwe bibabifudde mu mitendera gy'okuvunda wabaawo omutendera gw'okufuma.