Okufuna olubuto mu myaaka egisobba mu 50

Bisangiddwa ku Wikipedia
Omuyimbi omu Italy Gianna Nannini yalina emyaaka 56 bwe yazaala mu mwaka gwa 2010.

Okufuna olubuto mu myaaka egisobba 50 kati kisoboka mu bakyaala bangi okusinziira ku bikoleddwa mu assisted reproductive technology, mu egg donation. Okusingira ddala, fecundity y'omukyaala ekoma ne menopause, eyo, nga enyonyoddwa, giba myeezi 12 egy'egoberera nga omukyaala tagenda mu nsonga yadde. Mu biseera bya perimenopause, menstrual cycle ne periods zibulaabuula era oluvanyuma nezikoma okugya. Biological clock z'abakyaala zanjyawulo mu bakyaala abenjawulo. Obusobozi bw'omukyaala okuzaala busobola okukeberebewa mu ngeri ezenjawulo.[1] Omuyimbi omu Itale Gianna Nannini yalina emyaka 56 bweyazaala mu mwaka gwa 2010.

Mu United States, wakati wa 1997ne 1999, enzaalo 539 z'alangibwa mu ba maama ab'emyaka egisoba mw'attaano (nya ku buli nzaalo emitwaalo kumi), ne 194 nga balina emyaka egisoba mu 55.[2]

Maama asingayo obukulu eyawandikibwa mu bitabo paka kati yazaalira ku myaka 74. Okusinziira ku kisengekakalonda (statistics) okwava mu Human Fertilisation and Embryology Authority, mu UK abaana abasoba mu ma kumi abbiri bazaaliddwa abakazi abalina emyaka egisobba mw'attaano buli mwaka nga bayita mu in vitro fertilization n'okukozesa donor oocytes (eggs).[3]

Maria del Carmen Bousada de Lara ye yalina likodi ya maama akyasinzi obukulu; yalina emyaka 66 ne naku 358 bwe yazaals sbalongo, yali asinga ko ku Adriana Iliescu ennaku 130, eyazaala omwaana omuwala mu mwaka gwa 2005. Mu nsonga zombi, abaana bazaalibwa mu nkola ya IVF ne donor eggs.[4] Maama asinga obukulu eyazaala mu nkola y'obutondde(kya ka wandiikibwa mu biseera bya kaakati nga 26 Ogusooka 2017 mu Guinness Records[5]) ye Dawn Brooke (Guernsey); Yazaala omwaana omulenzi ku myaaka 59 mu 1997.[6]

Erramatti Mangamma mu biseera bya kakati alina likoddi ya maama omulamu asinga obukulu e yazaalalira ku myaka 73 nga ayita mu in-vitro fertilisation mu caesarean sectionmu kibuga kya Hyderabad, India. Yazaala abalongo abawala, eky'amufuula maama asingayo obukulu okuzaala abalongo.[7] Likoddi eno eya maama asingayo obukulu yali ekwatibwa Daljinder Kaur Gill okuva Amritsar, India, eyazaala omwana omulenzi ku myaaka 72 nga ayita mu nkola ya in-vitro fertilisation.

Eby'okumanya ku myaaka[kyusa | edit source]

Menopause ejjya wakati we mwyaka 44 ne 58 .[8] Tebatela kukebera DNA okukakasa ebigambibwa ku kuzaalira ku mwyaka emikulu ennyo, naye mu musomo ogumu omunene, mu ba Firika 12,549 ne ba maama aba sengukira mu Middle East, ekikakasiddwa okubeza DNA , ba maama babiri bokka baasangibwa okuba n'emyaka egisobba mu attaano; maama asingayo obukulu nga alina emyaka 52.omwaaka gumu mu kuzaala (era ne maama asingayo obutto ku myaka10.7).[9]

Eby'okumanya ku by'eddwaliro[kyusa | edit source]

Obuzibu bw'embuto bweyongera buli emyaka gya maama bwe jeyongera. Omuzibu obw'ekwasaganya mu kuzaala nga olina emyaka egisoba mu 50 mwe muli okweyongera mu nsonga za gestational diabetes, hypertension, okuzaala nga ba ku sazze, okuvaamu embuto, entunnunsi eyawaggulu (preeclampsia), neplacenta previa.[2][10] [<span title="Material near this tag may rely on an unreliable or less reliable medical source. (April 2018)">unreliable medical source?</span>] Mu ku geraaganya ne ba maama wakati we myaaka 20 ne 29 , ba maama ab'emyaka egisoba mu 50 kyenkana obuzibo bwe bafuna bukubisaamuemirundi essattu mu kuzaala omwaana abalina weight entono, okuzaala abaana abataneetuuka, n'okuzaala abaana abatto ennyo; obuzibu bwabwe obw'okuzaala abaana abalina weight entono, sayizi entono eya gestational age, ne fetal mortality kyenkana yali ekubisaamu emirundi ebbiri.[11]

Keesi Okufuna olubuto nga osukka emyaka 50[kyusa | edit source]

Debate[kyusa | edit source]

Embuto mu bakazzi abakulu zibadde nsonga ya butabanguko n'okuwakanya. Abamu bawakanya ensonga y'okuzaalira ku myaka egiyise nga basinziira ku buzibu bw'ekireeta ku bulamu, oba mu kutwaatibwako nti maama omukulu ennyo ayinza obutasobola ku labirira mwana nga akula, wabula nga abalala bawakana nti okuzaala ddembe ly'omuntu era kuba kwewaayo mu ndabirira y'omwaana, so si myaaka jy'abazadde, ye nsonga.

Omusomo gw'engeri elabibwaamu okufuna olubuto nga osoba emyaaka 50 mu Australians yazuula nti 54.6%bakiliza nti kyaali kisoboka mu bakyaala abayise mu menopausal okutambuza amaggi gaabwe era 37.9% bakiriza nti kyali kyikirizibwa omukyaala ayise mu menopause okufuna ova oba embryos ezimuweerebwa.

Gavumentti oluusi zitaddewo enkola okukendeeza n'okuziyiza okuzaalira ku myaaka emikulu ennyo. Mu myaka gya 1990, France yakiriza omukago(bill) ogali gu ziyiza okufuna embuto nga omukyaala ayise mu menopause, ekyo Minisita wa ba Falansa ow'ebyobulamu ow'ekiseera ekyo, Philippe Douste-Blazy, yagamba kyaali "... sikyampisa era kyali kiteeka obulamu bwa maama n'omwaana mu kakyaabaga". Mu Italy, ekibiina kya Association of Medical Practitioners and Dentists yaziyiza ba mmemba bakyo okuwa obujanjabi bw'okuzaala eri abakyaala abaweza emyaka n'egisoba mu 50. Eyali-Secretary of State for Health owa Britain Virginia Bottomley, yagamba nti, "Abakyaala tebalina ddembe kuzaala mwaana; omwaana alina eddembe okuba mu maka amalungi agasaanidde". Naye, mu mwka gwa 2005, ekomo ku myaaka ku IVF mu United Kingdom lyajyibwaawo mu butongole.

Amateeka amakakali ge gamu ku biziyiza abakyaala abanoonya IVF, engeri amalwaaliro amangi bwe ga teekawo ekomo zaago .

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://essentialparent.com/access/
  2. 2.0 2.1 https://doi.org/10.1016%2Fs0029-7844%2803%2900739-7
  3. http://www.theguardian.com/uk/2006/may/08/health.topstories3
  4. http://news.bbc.co.uk/2/hi/health/8152002.stm
  5. http://www.guinnessworldrecords.com/world-records/12000/oldest-mother-to-conceive-naturally-
  6. https://www.telegraph.co.uk/news/uknews/1562591/Worlds-oldest-mother-thought-it-was-cancer.html
  7. https://www.timesnownews.com/health/article/erramatti-mangamm-74-year-old-andhra-woman-delivers-twin-girls-may-be-the-oldest-mother-to-give-birth/483161
  8. (1195–205). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  9. https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC4345458
  10. https://web.archive.org/web/20041110005651/http://www.cnn.com/2004/HEALTH/11/08/mom.57/index.html
  11. https://web.archive.org/web/20150924104152/http://www.soph.uab.edu/isoph/LHC/Childbearing.pdf