Okufuukuuka omubiri
Okufuukuka omubiri
Buno bulwadde obujjira mu mbeera ez’enjawulo nga zireetebwawo engeri omubiri gye gusisiwalamu (gye gwewulira eri) ebyo ebiri mu bwetoloole bw’omuntu. Ku bantu abalala biyinza okuba nga bibakosa kitono oba oluusi obutabakoseza ddala. Okufuukuuka kw'omubiri kusobola okubeera mu ngeri ez'enjawulo nga, omusujja oguva ku bimera oba omuddo ogukaze, okufuukuuka olw’emmere, okulemererwa okussa, okufuukuuka okuleetebwa okulumwa ekiwuka ng’enjuki, olususu okukalambala n’embeera endala.
Obubonero kw’obulabira okufuukuuka kuliko: okumyuka amaaso, olususu okuyiwa olutulututtu olusiiwa, ennyindo okukulukuta, obuzibu mu kussa oba okuzimba, okukuba emyasi, okukolola n'ebirala. Omubiri okubeera nga tegukkiriza kika kya mmere ekimu n’omubiri okukyuka olw’okulya emmere eyonoonese mbeera za kufuukuuka ez’enjawulo.
Ebisinga okuleeta okufukuuka kw’omubiri
Empumbu n’ebika by’emmere ebimu, ebyuma n’ebintu ebirala. Emmere, okulumwa ebiwuka n’eddagala erimu erijjanjaba bye bisinga okuleeta obuzibu obw’amaanyi. Obuzibu buno busobola okubeera nga busikire oba nga buva ku butonde obwetoolodde omuntu. Omuntu akaberebwa okusinziira ku bujjanjabi omuntu bw'azzenga afuna. Okwongera okwekebejja olususu wamu n’omusaayi kubeera kwa mugaso nnyo wabula ng’okukebera omuntu n’azuulibwa ng’alina obulwadde obuvudde ku kintu ekimu kiba tekitegeeza nti ekyo ekireetedde omuntu oyo okufuukuuka nti kisobola n’okufuukuula omuntu omulala.
Singa ebintu ebimu bizuulibwa nga bireetera omuntu okufuukuuka kisobola okumuyambako okuziyiza embeera eno. Obujjanjabi bw’okufuukuuka buzingiramu okuwewala ebyo ebimanyiddwa nga bikireeta wamu n’okukozesa eddagala nga steroids ne antihistamines. Singa embeera etabuka omulwadde alina okukubibwa eddagala lya adrenaline nga liyisibwa mu mpiso. Okujjanjaba obulwadde buno ng’okozesa ebyo ebiyamba okwongera ku maanyi g’omubiri okulwanyisa endwadde, kiyamba omuntu okumanya ebintu eby’enjawulo ebivaako okufuukuuka kw’omubiri okugeza omuddo omukalu oba engeri omuntu gy’akosebwamu ebiwuka ebiruma.
Okufukuuka kw’omubiri mu nsi ezaakula edda kungi nnyo ebitundu 20% bafuukuuka olw’okulumwa ebiwuka, abalala ne bafuukuuka olw’emmere n’abalala okukalambala ensusu nga ziremererwa okukuuma amazzi mu lwo. Abantu ebitundu 1-18% babeera n’ekirwadde eky’okuziyira wabula kino kisinziira ku nsi omuntu mw'ali. Okufukuuka kw’omubiri okuva ku kulumwa ebiwuka kutwala ebitundu 0.05-2% ku bantu bonna. Omuwendo gw’abantu abafuna obulwadde buno gweyongera buli lunaku era nga bwasooka okuwulirwako mu mwaka gwa 1906.
Obubonero
Ebintu ebisinga ebireeta okufuukuuka kw’olususu okugeza enfuufu n’empumbu byo bitambulira mu mpewo era ng’obubonero bwabyo bubaawo oluvannyuma lw’empewo eno okukwatagana n’amaaso, ennyindo oba amawuggwe. Okugeza okufuukuuka okuva ku kusemberera omuddo omukalu kuleeta okusiiyibwa okw’amaanyi mu nnyindo, okwasimula, okusiiyibwa olususu n’okumyuka amaaso. Singa omuntu assa empewo eno erimu ebyo ebireetera omuntu okufuukuuka kireetera omuntu okufuna olunyiranyira mu mawuggwe, obuzibu mu kussa, okukolola n’okuyiriitira.
Ng’oggyeeko ebyo ebifuukuula omubiri ebyogeddwako waggulu, omuntu era asobola okufuukuuka omubiri okuva ku mmere, okulumwa ebiwuka n’eddagala erimu okugeza aspirin ne penicillin. Obubonero obulaga nti omuntu alina obuzibu ku mmere kuliko: okulumwa olubuto, okuzimba olubuto, okusesema, okufuna embiro, okusiiyibwa n’okuzimba olususu. Okufuukuuka okuva ku mmere oluusi kibeera kizibu okuleetera omuntu obuzibu mu kussa. Eddagala eriweebwa omuntu alumiddwa ekiwuka oluusi nalyo lireetera omuntu okufuukuka omubiri. Lisobola okuleetera ebitundu by’omubiri ebitali bimu okugeza, ebyenda, amawuggwe n’entambuza y’omusaayi. Singa embeera yeeyongera okubeera embi, kisobola okuvaamu okuzimba, entambula y’omusaayi okukkira ddala wansi, okuzirika wamu n’okufa. Kuno kisobola okubaawo ekibwatukira oba ne kitwala akabanga.
Emmere
Ebika by’emmere bingi ebisobola okuleetera omuntu okufuukuuka omubiri naye ng’ebitundu 90% okufuukuuka kuno kuleetebwa; amata, soya, amagi, eng'aano, ebinyeebwa ebizungu, n’ebyennyanja. Mu baana abato, singa amata gabeera nga gabafukuula emibiri kibeera tekirina kye kikyusa singa baganywa nga matabulemu amazzi oba nedda.
Emmere esinga okuleetera omuubiri okufuukuuka mu nsi eya America bye byennyanja wabula ng’ate byo ebinyeebwa bye bisinga okuleeta obubonero obw’omutawaana. Okufuukuuka kw’omubiri olw’ebinyeebwa tekiryawo nti kirabika nnyo mu bantu abakulu oba abaana abato. Ebintu ebirala ebireetawo okufukuuka kw’omubiri bibeera bya mutawaana singa bibeera nga byegasseemu ekirwadde eky’okuziyira. Okufuukuuka kw’omubiri kwawukana mu bantu abakulu n’abaana abato. Okufuukuuka okuleetebwa ebinyeebwa ebiseera ebimu kulabikira nnyo mu baana abato, kuno kugattibwako okuleetebwa amagi nga gano gakosa abaana abali mu myaka nga 5. Kino ebiseera ebisinga kireetebwa ekirungo ekibeera mu kitundu ky’eggi ekyeru so si mu njuba.
Okufuukuuka okw’omubiri okuleetebwa amata kulabikira nnyo mu baana abato. Abantu abamu emibiri gyabwe tegiriba na busobozi kumenyaamenya mata ga mbuzi oba ga ndiga n’ago agava mu nte, nga n’abamu balemererwa okukkiriza ebimtu ebiva mu mata mu mibiri gyabwe okugeza omuzigo. Abaana ebitundu 10% abafuukuuka olw’amata era babeera tebasobola kulya nnyama wadde ng’ennyama erimu akatondo kasirikitu ak’ekirungo ekisangibwa mu mata.
Ebika by’emmere ebireetera omuntu okufuukuuka byawukana okuva ku kika ekimu okudda ku kirala. Kino kisobola okukendeezebwa ng'obutaffaali bw'omubiri buzziddwa buggya, olwo obwo obuleeta okufuukuuka mu mubiri ne buba nba buggyiddwamu. Okunoonyereza kutono nnyo okukoleddwa ku nkyukakyuka ez’obutonde ez’ebyo ebireetawo okufukuuka kw’omubiri mu birime ebyo ebitalongooseddwamu.