Okugenda mu nsonga

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okugenda mu nsonga, abaamu kye bayita omwezi oba ensonga z’abakyala, kwe kuvaamu omusaayi okuva munda mu nnabaana okuyita mu bukyala. [1]

Obubonero[kyusa | edit source]

Obubonero obusinga mu bakyala olw’okwekoona akagere bwe buno wammanga: okuzimba amabeere, okulumizibwa mu ndira, okulumizibwa akagongogongo, okuba omukoowu, okwetamwa buli kimu n’enkyukakyuka mu mbeera z’obuntu.

Omukyala asooka okwekoona akagere ng’ali wakati w’emyaka 12 ne 15 naye ng’abamu batandika mangu ku myaka munaana. Ekiseera ekituufu omuntu w’aba alina okulwalira okuva ku kiseera ekyasooka okutuusa ku luddako waba wayina okuyitawo ennaku 21 ku 45 mu bakyala abato. Ate ennaku 21 ku 31 mu bakyala abakulu. Okulwala kukoma omukyala atuuse mu kiseera ky’okukoma okuzaala. Kino kitera kubaawo wakati w’emyaka 45 na 55. Okuvaamu omusaayi kutera okumala ennaku 2 ku 7.

Enkyukakyuka etera okubaaawo mu ndwala y’omuntu, ebaawo oluvannyuma lwa hormones okweyongera oba okukendeera. Kino kiviirako nnabaana okuzimbibwa mu ngeri y’okwetegekera okukuza omwana mu lubuto era ng’eggi ly’etaagisa mu kufuna olubuto. Eggi liteebwa ku lunnaku lwa 14 era nga ebisenge bya nnabaana biba birina okuwa omwana ali mu lubuto eky’okulya, singa omukyala tafuna lubuto ebisenge bya nnabaana ebiba bizimbiddwa okuliisa omwana biba birina okuyiiya, ekimanyiddwa nga okwekoona akagere.

Wayinza obaawo ebizibu eby’enjawulo olw’okukwala. Omuntu bw’atalwala nga wamyaka 15 oba mu nnaku 90, bw’afuna olubuto talwala era taddamu kulwala okutuusa ng’amaze okuyonsa. Ebizibu ebirala ebyekuusa ku kulwala mulimu; okulumizibwa ng’omuntu ali munsonga ze n’okuvaamu omusaayi okutali kwa bulijjo. Okugenda mu nsonga kubaawo ne mu bisolo ebirala okugeza obuwundo , amazike n’enkima.

Ebijulizo[kyusa | edit source]