Okukendeeza ku katyabaga k’ebigwawo nnamuzisa
Enkola ey’okukendeeza ku katyabaga k’ebigwawo nnamuzisa nkola eyita mu mitendera gy’okuzuula, okupima n’okukendeeza ku butyabaga obw’ebyo ebigwawo okuva mu butonde nga bya bulabe eri obulamu bw’omuntu. Enkola eno egendererwamu okukendeeza ku kunafuyizibwa kw’embeerabantu n’enkulaakulana okuleetebwawo ebigwabitalaze bino eby’obulabe nga tutunuulira ebyo ebiva ku butonde bw’ensi wamu n’ebizibu ebirala ebikireeta. Wano kibadde kifugibwa nnyo okunoonyereza ku kunafuyizibwa okw’enjawulo okwatandika okulabikira mu biwandiiko okuviira ddala mu masekkati ga 1970 era nga buno buvunaanyizibwa bwa bitongole ebifa ku nkulaakulana n’enkula y’ensi. Kino kirina okubeera ekitundu ekiramba ku ngeri ebitongole bino gye bikolamu emirimu gyabyo sso ssi kya kwogerako bwongezi oba ng’ekikolebwa omulundi ogumu gwokka ne kiviibwako. Enkola eno ey’okukendeeza ku bigwawo nnamuzisa esaasaanidde mu bitundu ebisinga obungi era ng’erabikira kumpi mu buli kitongole ky’ebyenkulaakulana wamu n’ebyo ebikola ku mbeera z’abantu. Ennyinyonnyola esinga okujulizibwako ku nkola eno ey’okukendeeza ku katyabaga ak’ebigwawo nnamuzisa y’eyo ekozesebwa ebitongole eby’ekibiina ky’Amawanga Amagatte. Emiramwa emikulu egigobererwa bwe busobozi bw’okukendeeza okunafuyizibwa n’obutyabaga bw’ebigwawo nnamuzisa mu mbeerabantu zonna, okuziyiza oba okussa ekkomo ku bizibu eby’enjawulo, nga bitunuulirwa mu kifaanayi ekyawamu eky’enkulaakulana eyimirizikikawo.
Embeera
[kyusa | edit source]Ku nsimbi obuwumbi bwa ddoola z’America 10 eziteeberezebwa okuba nga ziweebwayo ng’obuyamnbi okusobola okusitula embeera z’abantu, ebitundu bina ku kikumi (4%) byokka ze ziteekebwa mu kuziyiza obutyabaga. Kino kikyamu kubanga buli ddoola emu eteekebwa mu kukendeeza akatyabaga k’ebigwawo nnamuzisa ekekkereza wakati wa ddoola ttaano n’ekkumi mu kufiirwa okuleetebwawo ebigwawo nnamuzisa.
Enkulaakulanya y’ensonga n’engeri y’okukikolamu
[kyusa | edit source]Okuva mu myaka gya 1970 enteekateeka ku bigwawo eby’obulabe lwe yatandika okulowoozebwako era n’okukolebwako, walabiseewo entegeera engaziko ku nsonga lwaki ebintu bino bigwawo nga kikoleddwa mu kugatta endaba ez’enjawulo ku kukendeeza obulabe bw’abyo eri abantu mu kitundu. Enkola empya ekwata ku kweteekerateeekera ebigwawo etulaga ekyasalibwawo okukolebwa ku nsonga eno. Enkola ey’okukendeeza ku katyabaga k’ebigwawo eby’obulabe nkola mpya wabula ng’etwala mu maaso endowooza n’ebikolebwa eby’asooka. Etwalibwa mu maaso ebitongole by’ensi yonna, gavumenti ez’enjawulo, abateekerateekera ebizibu ebigwabitalaze, wamu n’ebitongole bya gavumenti eby’enjawulo. Bangi balaba enkyukakyuka mu mbeera y’obudde ng’erina ky’eyongera obutereevu ku kujjawo kw’ebigwawo eby’obulabe n’okubeera kw’abyo ebyamaanyi n’okweyongera kwabyo mu biseera eby’omu maaso. Waliwo kaweefube akolebwa okusobola okukwataganya Okukendeeza kw’ebigwawo nnamuzisa wamu n’enkyukakyuka mu embeera y’obudde. Okukendeeza kw’ebigwawo nnamuzisa nkola ekolebwako kumpi mu buli kitundu okwetoloola ensi wabula ng’ekyalina okusoomooza kw’amaanyi okuginnyonnyola mu bulambulukufu bwayo, newankubadde ng’ekirowoozo ekisinga okuba ekigazi ekigikwatako kitegeerwa bulungi. Wabaddewo obwetaavu ku kwongera okutangaaza ku biri mu nkola eno ey’Okukendeeza kw’ebigwawo nnamuzisa era n’ebyo ebiraga oba ng’embeera esobola okudda mu nteeko. Okusoomoozebwa kuno kwakolebwako Ekibiina ky’ensi yonna mu lukiikiko olw’Amawanga Amagatte (UN) olwatuula okuteesa ku Kukendeeza Ebigwawo eby’obulabe mu kibuga Kobe mu Japan mu mwaka gwa 2005 nga waakayita ebbanga ttono nga baakatuula okuteesa ku mutenzaggulu eyali yeeriisa enkuuli mu liyanja lya Buyindi mu mwaka 2004. Enteekateeka z’Ekibiina ky’Amwanga Amagatte ziyambye nnyo okwongera okutereeza n’okussa amaanyi mu nkola eno ku mutendera ogw’ensi yonna nga kino okusooka kyakolebwa mu kiwandikko ekyabagibwa ekibiina kino mu myaka gya 1990 bwe gyali giwera emyaka kkumi bukya enkola eno etandikibwawo mu nsi yonna. Ba mmemba mu kibiina ky’Amawanga Amagatte baakakasa enkola eyali ey’okukozesebwa mu nsi yonna ku kukendeeza ebigwawo nnamuzisa nga yali ekubiriza abantu okuva ku nkola enkadde ez’okuziyizaamu ebintu bino eby’obulabe nga batwala mu maaso enkola ey’okubiziyiza nga tebinnabaawo.
Ezimu ku nsonga n’okusomooza okuli mu Kukendeeza ku katyabaga k’ebigwawo nnamuzisa
[kyusa | edit source]Ebisoosowazibwa
[kyusa | edit source]Tekibeera kya bwenkanya okusuubira nti buli kimu ekikolebwa mu kukendeeza akatyabaga k’ebigwawo nnamuzisa kiba kyakutambula bulungi olw’obusobozi n’ebikozesebwa ebitamala. Gavumenti n’ebibiina ebirala birina okuvaayo okusalawo ku nteekateeka ez’okussaamu ensimbi, kizissaamu ddi era na mu bungi ki. Kya kusomooza kya maanyi nti ebyo ebikolebwa bifa nnyo ku nkulaakulana z’amawanga okusinga okuziyiza obulabe buno obw’ebigwawo nnamuzisa.
Ebibiina eby’obwegassi wamu n’enkwatagana mu bitongole
[kyusa | edit source]Tewali kibinja kyonna oba kibiina kisobola kuvaayo kutangaaza ku buli nsonga eri mu nkola ey’Okukendeeza ku katyabaga k’ebigwawo nnamuzisa. Buli omu alowooza ku nkola eno ng’ekizibu ekisukkiridde obuzito ekyetaaga okukwatibwako okwawamu. Mu kifaanayi ekigaziko eky’enkola eno, enkolagana wakati w’ebibiina eby’ebika eby’enjawulo wamu n’ebitongole efuuka ngazi era nga nzibu. Enkola ng’eno ebeera yetaaga nga waliwo enkolagana ennungi wakati w’abo abali mu buyinza n’abantu bawansi. Bwe kituuka ku kugattamu ebibiina okusalawo kulina okukolebwa ku bibiina eby’okugattamu.
Ebitundu n’ebibiina byabyo
[kyusa | edit source]Waliwo endowooza bbiri eziggya abantu ku mulamwa ezikwata ku bitundu/ebyalo. Ekisooka balaba ebibiina ebikolebwawo mu bitundu ng’ebitalina mugaso mu kubaako kye bikola mu kaseera ak’akazigizigi. Ebikolwa eby’obutonde ebikolebwa mu byalo okugeza okunoonya obubudamu birabibwa ng’eby’obutaliimu era ebitaataaganya olw’okuba nga tebifiibwako ba buyinza. Endowooza ey’okubiri y’ey’okuba ng’ebizibu bino ebigwawo ekibwatukira bireetawo okukyamuukirira mu bantu abatabadde mu bitundu mwe bigudde okugeza abamu batya, abalala babba ebintu n’engeri endala. Noolwekyo beetaaga okubuulirwa eky’okukola n’okufuga enneeyisa zaabwe nga bwe kiba kiyitiridde walina okuteekebwawo etteeka ery’ekinnamagye. Endaba endala ewagirwa okunoonyereza okuwererako ddala eggumiza omugaso gw’ebyalo n’ebibiina ebikolebwamu mu kuziyiza ebigwawo eby’obulabe. Ensonga eri nti ebibiina bino eby’omu byalo bituuka bulungi ku bizibu eby’enjawulo n’ebyetaago ebisangibwa mu kitundu, nga bifaayo okutumbula amagezi mu bantu ba bulijjo n’obukugu bwabwe mu ngeri esingayo okubeera eya layisi. Ensonga endala okweyimirizaawo kwa buli muntu nga biyita mu nteekateeka ez’obwannannyini wamu n’okunyweza obusobozi bw’obukulembgeze eri buli muntu. Kino kizzaamu abantu amaanyi nga kibasobozesa okumanya n’okumalawo ebisomooza eby’enjawulo. Abantu aba bulijjo wamu n’ebibiina ze mpagi luwaga mu nkola ey’okukendeeza akatyabaga k’ebigwawo nnamuzisa era nga be babeera eky’okuddamu kya buli nsonga.
Eky’okuyiga okuva mu bantu b’e Columbia
[kyusa | edit source]Amataba amangi ennyo gaagoya ebitundu 32 mu Columbia wakati wa 2010 ne 2012 era ng’abantu obukadde busatu mu emitwalo nkaaga baakosebwa. Nga 24/04/2012, omukulembeze w’eggwanga eyaliko mu kiseera ekyo Pulezidenti Juan Manuel Santos yassaawo etteeka eryali ligendererwamu okwongera omutindo mu ndaba y’ebizibu ebigwawo eby’obutonde n’engeri y’okubiziyizaamu ku mutendera gw’eggwanga lyonna wamu ne ku mutendera ogw’omuntu owa bulijjo. N’obuyambi bw’ensimbi okuva mu kitongole ekya “Climate & Development Knowledge Network”, ekibinja ky’abantu kyamala emyezi 18 nga bakola n’abakazi okuva mu Munisipaali y’e Manati mu ttabi erya Atlantico. Mu ggwanga eryo, abakazi 5,733 be baakosebwa amataba nga baali balina okuddamu okuzimba obulamu bwabwe obuggya mu kifo kya Manati ekyali kifuukafuukanye. Abantu abaali mu pulojekitii eno baakola butaweera n’abakazi bano okulaba engeri gye bayinza okumalako n’embeera embi eyali ereeteddwawo amataba gano n’okulaba nga bazzaawo embeera y’okubeera obumu eyali mu kitundu kino. Ebyanoonyerezebwa byalaga emitendera egyayitibwamiu okuzza ekitundu kino obuggya era emitendera gye gimu gisobola okuyitibwamu gavumenti okukendeeza obulabe bw’ebigwawo eby’obulabe eri abantu. Abanoonyereza era bakkaatiriza nti kibeera kya mugaso nnyo okugoberera ekikula olw’ensonga nti abakazi n’abasajja bakola emirimu gya njawulo nnyo ate n’ekirala nti embeera embi bw’egwawo, abakazi bakosebwa nnyo okusinga abasajja.
Obukulembeze
[kyusa | edit source]Enkola ey’Okukendeeza ku katyabaga k’ebigwawo eby’obulabe yetaaga okuddamu okulambika omulimu gwa gavumenti mu kukendeeza ebigwa bitalaze eby’obulabe. Kyakkiriziganyizibwako nti gavumenti z’amawanga zirina okukola omulimu ogusinga obunene mu nteekateeka eno. Balina omulimu gw’okukuuma abantu n’ebintu wamu n’obusobozi bw’okugaziya enteekateeka eno, obuyinza obw’okuluamya emirimu egikolebwa abalala, n’okuteekawo amateeka. Amateeka gano ne pulogulaamu ez’enjawulo birina okuba nga bikwatagana bulungi. Okunoonyereza era kukyetaagisa okusobola okuzuula lwaki gavumenti ezimu zisobodde ekizibu kino okukituula ku nfeete ate endala ne ziremererwa.
Embalirira n’eddembe
[kyusa | edit source]Etteeka erikwata ku mbalirira lifiibwako ebitongole by’eggwanga ebisuubirwa okukola kino mu ngeri etaliimu kyekubiira wamu n’ebitongole eby’obwannakyewa ebitafugibwa nkola ya demokulasiya. Embalirira efuuse ensonga enkulu mu kukendeeza kw’ebigwawo nnamuzisa era ng’erina kugasa abo abakosebwa embeera z’ebigwa bitalaze oba abo abali mu katyabaga k’okugwibwako embeera eno. Ebitongole bingi ebigabi by’obuyambi mu nsi yonna bivuddeyo n’endowooza ku ddemimbe ly’abantu. Endowooza eno ezingiramu eddembe omuntu ly’aba nalyo; okugeza eryo erikkiriziganyizibwako okuyita mu ndagaano z’ensi yonna n’eryo ekitongole lye kikkiriza. Mu mbeera nga zino olulimi olw’eddembe lusobola okukozesebwa mu makulu agasukka ku mulundi ogumu. Obukuumi okuva eri ebizibu ebigwawo mu butonde tekitwalibwa nga ddembe lya muntu newankubadde nga kirambikibwa mu mateeka g’ensi ezimu okusinga nga tekirambikiddwa butereevu. Ekirowoozo ky’eddembe ly’okukuumibwa kikubaganyizibwako ebirowoozo mu ngeri ezimu.
Etteeka n’obusigansimbi
[kyusa | edit source]Mu kunoonyereza okwakolebwa mu mwezi gw’omukaaga ogwa 2012, abanoonyereza aba “Oversees Development Institute” baatangaaza ku bwetaavu bw’okwongera okwekennenya Enkwata y’Ebigwawo eby’obulabe mu tteeka ly’ensi yonna nga kino kyalina okukkaanyizibwako mu mwaka gwa 2015. Ensimbi ezisaasaanyizibwa ku bigwa bitalaze zeeyongera okulinnya buli lukya era nga n’ensimbi abantu ze balikozesezza okuwerinda obwetaavu bwabwe obw’omu maaso baazimalira mu bigwa bitalaze eby’obutonde ebikosa obulamu bwabwe.