Okukola obulimiro obutono
OKUKOLA OBULIMIRO OBUTONOTONO [NURSERY BED] Kirungi okusimba ensigo nga enkuba yakatandika okutonya. Waliwo ebika by’emiti egikula amangu nga{ leucauna] ne kalitunsi ebiyinza okumala emyezi 3 okuba nga gituuse okusimbuliza. Waliwo ebika by’emiti nga{ grevaria ], {eriamaikaria], ne { acacias] egiyinza okutwalira ddala emyezi 4– 6 okusimbuliza. Nolwekyo olina okutandiika okukola kubya{ nursery bed]okusobola okutegeka ensigo gyonosimba ngo’zijja k miti egyo egisinga okuba egyomugaso. ATE WALIWO[ NURSERY BEDS] ngazo za nva gamba nga enyannya, emboga nebirala. Zozino zo zikula mangu okusinga ezo ezembala singa oyiwa[ nursery bed ] nga ensigo omaazze galonderela era nekyonofunamu bwekijja okuba, wabula endokwa bwoba nga wakoze [nursery bed ] wonozijja okuzisimba tekyetagisa nnyo kuzitteka mubuveera, osimbuliza busimbuliza n’otwala mu nimiro. Katugambe oyina okuba ne ka[ nursery bed ] ko nga kenkana futi 2 ku futi 3, oyinza okukasimba ku nsonda y’enimiro yo. ENTEGEKA ya [ nursery bed ] Tegeka nga [ nursery bed ] essala akaserengeto. Wonokola akarimiro watekwa okuba nga wakabale bulungi. Terezawo bulungi wenkanenkane, tema emiteteme ozizike akarimiro okuziyiza mukoka okutwala ensigo n’ettaka. Wekakase nga ‘karimiro tekasuka futi3 obugazi obuwanvu kola nga bwoyagala. EBIGIMUSA Kozesa obusa obuvunze obulungi gamba obufuuse attaka oba ettaka egimu obulungi. Yiwa ensigo zino mubuwanvu wanvu okutuuka ku ndala ebanga ly’annyingo 3 . Koloboza mu ‘kalimiro wakati buwanvu wanvu bwa kimu ky’akubiri eky’ennyingo, yiwa ensigo obikeko ettaka okujjuza wokoloboza. Bikka akalimiro kano nesubi tonotono oba samusamu fukirira ngokozesa ekifukirira amazzi. Oyinza okusimbako akayumba waggulu okuziyiza ebisolo okubyonona, waggulu obuwanvu akayumba kaba ka futi 2. Kyandibadde kirungi oyongere okunyweza emigogo gino gireme okusesetuka. Era ofukirire akalimiro emirundi ebiri , kumakya n’akawungezi buli lunnaku. Obusigo obutameredde mu buwanvu wanvu bwewakola bugyemu okirize obuli mu buwanvu wanvu okumera obulungi.
Okusimba ensigo zino mu nimiro kirungi zibe nga ziwezeza ennyingo 4-5 . Sooka ojjeko ekisikirize mpolampola okutuusa lwezisobola okugumira omusana. Kendeza okufukirira , omulundi gumu olunnaku guba gumala. Jako ekisikirize, kozesa ejjambiya ojje obulokwa buno muka limiro nga obusimba busobole okugenderako ettaka , enkuba bweba tetonya kyalibadde kirungi okufukirira.