Okukoma okuzaala

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ekiseera omukyala bw’aba nga takyalwala oba nga takyagenda mu nsonga ky’ekiseera omukyala w’abeerera nga takyasobola kuzaala baana. Kino kibaawo oluvannyuma lw’omwaka okuggwaako ng’omukyala tagenze mu nsonga. Kino kibaawo wakati wa myaka 45 kwa 55 era nga kibaawo mu bakyala bokka.[1]

Ekiseera eky’okukoma okulwala nga tekinnabaawo, omukyala atandika okulwala nga bw’abuka mu ennaku ezimu. Omuntu anaateera okutuuka mu kiseera ky’obutalwala afuna okumyansa, okwokyerera mu lubuto, era nga kino kisobola okutwala butikittiki 30 okutuka ku dakiika kkumi. Bwekityo omuntu oyo (anaateera okukoma okuzaala) atuuyanirira wamu n’okukankana. Oluvannyuma lw’omwaka oba emyaka ebiri, okumyansa kulekera awo, olwo obubonero obulala ng’obukalu mu bukyala, obutafuna tulo, n’okukyuka embeera butandika.

Ekiseera ky’obutalwala (okukoma okuzaala) nkyukakyuka ya butonde, era nga kisoboola okubaawo amangu mu bakyala abafuuwa taaba. Ebimu ku bintu ebireetawo enkyukakyuka mu biseera by’obutalwaala: okulongosebwa nnabaana yenna n’aggyibwamu oba okukalirirwa. Ekiseera ky’obutalwala kibaawo oluvannyuma lwa hormones okukendeera mu muntu. Obulwadde buno bumanyika, oluvannyuma olw’okupima omutendeera gwa hormones nga bayiita mu musaayi oba mu musulo. Kino kyekuusa ku mbeera ebeerawo nga omukyala atandika okulwala.

Obumu ku bubonero obulaga ekiseera ky’obutalwala busobola okujjanjajabibwa oluvanyuma lw’okufuna okumyasa. Ebintu bino wammanga bye birina okwewalibwa okugeza; okwewala okufuuwa taaba, okunywa omwenge n’okukozesa ebiragalalagala. Wabula ate okwebaka mu kisenge ekirina akawewo akalungi n’okukozesa ebiwujjo kisobola okuyamba. Obumu kubujanjabi mulimu menopausal hormone therapy (MHT), clonidine, gabapentin, oba selective serotonin reuptake inhibitors obusobola okuyamba; okukola dduyiro nakwo kusobola okuyamba mu kwebaka. Wabula abasawo balagira omuntu afuna obubonero bw’obutalwala okufuna obujjanjabi bwa MHT.

References[kyusa | edit source]

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Wikipedia:WikiProject_Medicine/Translation_task_force/RTT/Simple_menopause