Okukomola Abakyala
Okukomola abakyala[[1]] nsonga emaze ebbanga ng'eyogerwako naddala mu mawanga ga Afrika. Ekitongole ky'Ebyobulamu mu nsi yonna(WHO), kinnyonnyola okukomola abakyala nga emitendera gy'okuggya ebimu ku bitundu mu butonde bw'omukyala nga kikolebwa awatali nsonga yonna yeekuusa ku bya kisawo. Okukomolebwa kw'abakyala kikolebwa nga eky'obuwangwa mu nsi (27) naddala mu bitundu bya Afrika eby'omu masekkati, mu bitundu bya Afrika eby'obuvanjuba, mu mawanga agamu mu ku lukalu lwa Asia, mu mawanga g'Abawarabu, ate era ne mu mawanga agasengukira mu bitundu by'ensi eby'enjawulo.
Emyaka abakyala kwe bakomoloerwa
[kyusa | edit source]Emyaka abakyala kwe babakomoloera gyawukana okusinziira ku mawanga ag'enjawulo. Ebbanga lino libalibwa okuva mu kiseera ng'omuwala yaakazaalibwa okutuuka awo mu kiseera w'addiza omukono emabega. Mu mawanga agamu agalaga emiwendo n'ebikolebwa ku kukomola abakyala, balaga nti abawala abasinga bakomolebwa nga tebannaweza myaka etaanu.
Engeri gye bakomola
[kyusa | edit source]Enkola eno ezingiramu emitendera egisukka mu gumu era nga gino gikolebwa okusinziira ku ggwanga. Okusala kuno kuzingiramu okusala omusino gwonna oba ekitundu kyagwo. Mu mutendera ekitongole kya WHO gwe kyogerako ng'Okukomolebwa okw'ekiti ekyokusatu, omukyala alekebwawo omwagaanya (akawaatwa) katono ddala okusobola okuyitamu omusulo n'omusaayi singa omukyala abeera agenze mu nsonga era n'obukyala bulekebwawo lwa kwegatta na kuzaala. Kino kiyinza okuviirako omukazi obutafuna lubuto, okulumwa ng'azaala n'okuvaamu omusaayi omungi.
Ekikolwa kino kisinga kukolebwa ku bakyala abakitwala nga eky'omuwendo n'abo abalaba nga nti singa babeera tebakomoddwa abaana baabwe n'abazukulu baba bagya kusosolebwa.
Okukomolebwa kw'abakyala tekuli mu mateeka era kwawerebwa mu nsi ezisinga lwakuba amateeka agateekebwa mu nsi tegateekebwa mu nkola. Wabaddewo kaweefube okwetoloora ensi yonna okuva mu 1970 okusobola okusikiriza abantu okukomya ekikolwa kino. Mu 2012, Ekibiina ekigatta Amawanga gonna mu nsi, kyalangirira ekikolwa kino nga okutyoboola eddembe ly'obuntu.