Okukomola Abasajja
Okukumola[[1]] abasajja kwe kusalako oluliba lw'omu maaso olubeera ku busajja. Mu kukomola, eddagala erisannyalaza ery'enjawulo litera okukozesebwa, nga kino kiyambako okukendeeza ku bulumi ng'omuntu akomolebwa. Waliwo eddagala erisannyalaza eritera okukozesebwa eryekinnansi erisiigibwa obusiigibwa ku busajja naye ng'ate waliwo n'ezzungu eriyisibwa mu kayiso okusobola okusannyalala.
Ensonga ezireetera okukomola abasajja
[kyusa | edit source]Ebiseera ebisinga wabeerawo okukomolebwa kw'abaana abalenzi n'abasajja abalondemu olw'ensonga z'eddiini oba ebyobuwangwa byabwe.
Kyokka ate omulundi omulala omuntu ayinza okukomolebwa lwa nsonga ya bujjanjabi oba okukendeeza ku mikisa gy'okukwatibwa endwadde. Era oluusi okukomolebwa kukolebwa nga bwe bujjanjabi bwokka obusoboka, gamba nga mu mbeera ng'oluliba olwo olubeera mu maaso g'obusajja lutono nnyo, era nga terukyakkiriza busajja kweyongera kukula, era ng'awo luba lulina okusalwako obusajja bukule. Oba singa wabaawo okukuubagana wakati w'oluliba olwo n'omutwe gw'obusajja, ekitera okuleetawo n'okufuna amabwa, olwo era omuntu aba alina okukomolebwa olw'embeera eno.
N'ekirala okukomolebwa kubaawo okwetangira n'okukendeeza ku mikisa ky'okukwatibwa endwadde ezikwata ebitundu ebikungaanya n'okutambuza omusulo ezitera okuleetebwa obukyafu.
Okukomola mu nsi yonna
[kyusa | edit source]Ebitongole by'ebyobulamu mu nsi yonna bikubiriza abasajja n'abaana abalenzi okwekomoza, naye nga si kya buwaze. Obujulizi bulaga nti okukomolebwa kw'abasajja kukendeeza ku mikisa gy'okukwatibwa kw'akawuka akaleeta endwdde ya Mukenenya (siriimu) naddala mu basajja abeegatta n'abakazi ababeera wansi w'eddungu Sahara mu Afirika, era ekitongole ekikulira ebyobulamu mu nsi yonna kikubiriza abasajja okwekomoza ng'emu ku nkola ey'okwetagiramu endwadde ya siriimu (kikendeeza ku mikisa gy'okukwatibwa siriimu). Era kiyamba n'okwetangira endwadde nga kookolo w'obusajja, wamu n'endwadde ezikwata nga ziyita mu musulo.
Kiteeberezebwa nti abasajja ebitundu kimu kyakusatu mu nsi yonna bakomole naye gn'abasinga obungi basangibwa mu nsi z'Abayisiraamu ne mu Israel. Mu nsi ezo okukomolebwa kukolebwa lwa nsonga za ddiini. Mu nsi z'e Bulaaya (Europe), Amerika ey'amaserengeta n'ebitundu ebirala nga Asia okukomolebwa kutono nnyo ddala.