Okukunuunukiriza n'Okuzingako(Approximation and Rounding numbers)
Okukukunuukiriza n’okuzingako
(Approximation and rounding off numbers)
Okukunuukiriza (estimate) kikozesebwa nnyo mu kibalangulo ne mu bulamu bwa bulijjo.
Oyinza okuzingako omuwendo gwa sente, ebiseera, olugendo (distansi), n’endagabungi (quantities) endala nnyingi. Okuzingako (rounding off) ngeri ya kukunuukiriza. Oku zingako emitonnyeze:
i. Funa omuwendo gw’ekifo (place value) gw’oyagala okuzingako olwo otunula ku digito eziddako ku ddyo.
ii. Singa digito (digit) eba wansi wa 5, tokyusa digito ezingako (rounding digit) kyokka suula digito zona eziddako ku ddyo.
iii. Singa digito eba esinga ku 5 gattako emu ku digito ezingako osuuule digito zonna eziddako ku ddyo.
Okuzingako namba enzijuvu
Okuzingako namba enzijuvu (whole number) :
i. Zuula omuwendo gw’ekifo gw’oyagala (digito ezingako) olyoke otunuulire digito eddako ku ddyo.
ii. Singa digito eba wansi wa 5, tokyusa digito ezingako (rounding digit) kyokka kyusa digito zonna eziddako ku ddyo wa digito ezingako ozifuule ziro.
iii. Singa digito eyo eba 5 oba okusinga wo, gatta emu ku digito ezingako bw’omala okyusa digito zonna ku ddyo wa digito ezingako ogifuule ziro.
Mu namba 785 . 3862 :
1000 y’esingayo okubeera okumpi mu nkumi
790 y’esingayo okubeera okumpi mu makumi
785 y’esingayo okubeera okumpi mu nsusuuba
800 y’esingayo okubeera okumpi mu bikumi
785.4 y’esingayo okubeera okumpi kimu kye kumi
785.39 y’esingayo okubeera okumpi mu kimu ku kikumi
785.386 y’esingayo okubeera okumpi mu kimu kya lukumi
Okukunuukiriza oba olina okuba n’obusobozi okuteebereza n’osemberera ansa entuufu kintu ekikozesebwa ennyo mu kibalangulo ate ekyangu ennyo mu bulamu obwa buijjo
Ebikunizo
Zingirako buli namba ku kigo ekimsabiddwa
1) Zingirako 6,329 ku kikumi .Ansa: 6,300
2) Zingirako 646 ku kifo ky’ekumi . Ansa 650.
3). Zingirako 91, 480 ku kifo ky’olukumi . Ansa 91,000