Okulambika ebirowoozo(Inductive reasoning)
Okulambika ebirowoozo(inductive reasoning) kwetaagisa okulambika ensonga (inductive logic)kuba kunoonya nsonga n'ojijjayo bulungi ku lulwo nga osengeka ebirowoozo.
Okulambika ensonga oba okulowooza nga olambika ensonga mu lungereza kiba “inductive reasoning”. Okuyita mu kukozesa obwongo ng’olambika ensonga, omuntu kalimagezi:
• Alambika ebirowoozo bye okuva wansi okudda waggulu.
• Atuuka ku kuvumbula oba okumanya ebipya.
• Kimusobozesa okuyigiriza abalala okwevumbulira oba okwezuulira okumanya okupya.
• Okulambika ensonga kitendeka omulengera (the mind) n’okukulaakulanya enkola z’omulengera (mental processes) mu bato nga bayiga okwevumbulira ebipya. • Kimwetaagisa okukozesa ensonda ez’enjawulo
Okulambika ensonga oba okukozesa obwongo ng’olambika ebirowoozo (inductive reasoning) kiringa kutema kkubo awatali kkubo kubanga otandika tolina ky’omanyi wabula n’okozesa okwekebejja, okwekenneenya, n’okwefumiitiriza okutuuka ku kipya.
Engeri y’okusomesa oba okuyiga ng’olambika ensonga kiringa kutema kkubo awatali kkubo okutuuka ku kigendererwa (okuzuula ekituufu). Mu kutema ekkubo awatali kkubo mulimu okuyita ku busozi n’ebikko ate awo n’okyusaamu okufuna aw’okuyita awatuufu ate nga buli w’otema ogenda olambawo (olambikawo). Okusomesa okulambika ensonga kiyamba nnyo mu baana abato okukulaakulanya enkozesa z’obwongo bwabwe, naddala okwefumiitiriza n’okwetuukira ku kituufu ku bwabwe.
Okulambika ebirowoozo kitegeeza kuyamba muyizi kwetemera mpenda zituuka ku kumanya ekituufu kwekyo kyonoonyerezaako, ng’okozesa obwongo mu kifo ky’omuntu omulala okukubuulira ye ky’amanyi.
Ekituufu kiri nti abato basinga kuganyulwa mu kubayamba okulambika ensonga, omuli okubayigiriza okwezuulira ekituufu mu kifo ky’okubagamba obugambi nti kino oba kiri kye kituufu kubanga obwongo bwabwe buba bukyaalina obusobozi bwa maanyi.
Mu kinonoozo(engineering) kyetaagisa okunnyonnyoka n’okunonooza amateeka ga sayansi ez’ensibo (natural sciences)kikusobozese okuzimba ennyanguyirizi(machines) , ebizimbe, enguudo oba ennongoosereza ezetaagisa. Obutafaanana na kulambulula, okulambika kikolwa kya kwevumbululira (okukwekula) na kukozesa mateeka ga sayansi okuyiiya tekinologia omupya nga okola okunoonyereza eno nga bw’ogenda olambika buli mutendera gw’oyitamu naddaala okukola ennongoosereza mu tekinologiya aliwo oba okuvumbula tekinologiya omupya.